Amawulire

Aba St. Marys Kitende beesozze  final mu za Africa schools’ championship

Aba St. Marys Kitende beesozze  final mu za Africa schools’ championship 

Abazannyi ba St Mary;s Kitende
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Uganda 0 (4) – 0 (3) Benin
Senegal 4 – 0 Morocco
Abakiise ba Uganda mu mpaka z'omupiira eza Africa schools’ championship aba St. Mary’s Kitende kyadaaki beesozze oluzanya olwakamalirizo omulundi gwabwe ogusookedde ddala mu byafaayo.
Kitende okukola ebyafaayo emaze kuggyamu Benin gyekubye goolo 4-3 mu kakodyo kokusimulagana peneti. Omupiira gwaweddeko nga tewali alengedde katimba ka munne yadde nga Kitende yakoze emikisa egiwerako egyabadde gisobola okuvaamu goolo.
Omukwasi wa goolo Hamidu kasumba eyavudde ku katebe yeyabadde omuzira wa Kitende oluvannyuma lwokukwata peneti bbiri. Eze okombi, bashir edema ne Musisi bebasoose okuteeba peneti za kitende essatu ezasoose wabula elisa mukisa nasubwa peneti eyokuna. 
Kasumba yakutte peneti ya Benin eyokuna ekyawadde Akram ssenyonga omukisa okuteeba eyiye eyasembyeyo eyayisizaawo kitende.
Guno gubadde mulundi gwakuna nga kitende yeetaba mu mpaka zino wabula nga ekoma ku luzannya oluddirira olwakamalirizo. Mu mpaka ezaali e zaanzibar omwaka oguwedde Kitende baagikubira ku mutendera gwegumu era nekwata ekifo kyakuna.
Wabula kitende oba oli awo teyandituuse mu peneti singa abateebi baayo baakozesezza emikisa enjiolo egyakoleddwa. Kitende yatandise namaanyi mu dakiika ekkumi ezasoose Nekola emikisa mukaaga egyabadde gisobola okuvaamu goolo kyokka abateebi okwabadde owen mukisa ne lucky Wanyama bagyonoonye.
Mu dakiika eye 18 omuwuwutanyi musa kironde yasinsimudde ennyanda okuva mu yaadi 35 wabula omukwasi wa gooolo ya Benin Rahimi nagumansula.nga ekitundu ekyokubiri kyakaddamu kitendemu yazzeemu nenyiga obusajja nga eyagala goolo nga buteerere.
Ku luzannya olwakamalirizo kitende egenda kwambalagana ne Senegal etimpudde Morocco mu luzanya oluddirira olwakamalirizo. 
Omuwanguzi wempaka zomwaka guno alindiridde kubukaayo nekavu wa mitwalo 30 egya doola nga mu za Uganda kekawumbi kamu mu obukadde kikumi.
Final yaakuzanyibwa olunaku olwenkya ku kisaawe kyekimu

Tags: