Amawulire

Bajjukidde omugenzi Philly Lutaaya ne balabula abantu okwongera okwekuuma mukenenya

Ab'ekitongole ekitakabana okukendeeza ensaasana y'akawuka ka mukenenya ekya Uganda Network of Aids Service organisations(UNASO) beetabye mu kujjukira omugenzi Philly Bongole Lutaaya ne balabula abantu okwongera okwekuuma .

Abamu ku beetabye mu lukungaana ku MUBS.
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

Bya  Huzaima Kaweesa

Ab'ekitongole ekitakabana okukendeeza ensaasana y'akawuka ka mukenenya ekya Uganda Network of Aids Service organisations(UNASO) beetabye mu kujjukira omugenzi Philly Bongole Lutaaya ne balabula abantu okwongera okwekuuma .

Bano nga bakulembeddwaamu Shakirah Namwanje, basinzidde mu lukungaana olwategekeddwa ekitongole ekitakabana okukendeeza ensasaana y'akawuka ka mukenenya ekya Uganda Aids Commission  ku mukolo oguyindidde ku kisaawe kya MUBS e Nakawa.

Shakirah Namwanje ng’akola n’ekitongole kya Uganda Network of Aids Service Organisation (UNASO) ategeezezza  ng’ obuzira bw’omugenzi Philly Lutaaya bwe yayolesa mu kuvaayo n'alangirira nga bwe yali afunye akawuka ka mukenenya bwe buyambye ne bannansi abalala okumulabirako ne bakkiriza nti kituufu balina okuguma bafune obujjanjabi.

Namwanje ategeezezza ng’ekikolwa kya Lutaaya kye yakola bwe kiraga obuvumu obw'amaanyi kyokka n'amusiima kubanga yaviirako abantu bangi okukkiriza nti ddala balwadde ne basalawo okufuna eddagala n'obujjanjabi ob'enjawulo ekiyambako okubakuuma nga balamu bulungi newankubadde nga babeera n'akawuka ka mukenenya.

Munnakatemba Aloysius Matovu Joy (ku Ddyo) N'abalala Nga Beetabye Mu Lukungaana.

Munnakatemba Aloysius Matovu Joy (ku Ddyo) N'abalala Nga Beetabye Mu Lukungaana.

Ono era asabye abaana naddala ab'obuwala okukendeeza omuze gw'okulowoolea mu basajja kubanga oluusi kiviirako okweyongera kw'okufuna obulwadde bwa mukenenya.

Namwanje era asabye gavumenti okwongera amaanyi mu kusomesa abantu ku bulwadde bwa mukenenya n'engeri gye balina okwongera okwekuumamu ekirwadde kino naddala nga bayita ne mu kwongera ku muwendo gw'obupiira mu malwaliro kiyambeko okukendeeza ku kusasaana kw'akawuka ka mukenenya.

Faisal Katende ng’ ono yazaalibwa n'akawuka ka mukenenya asabye abantu okukomya okubasosola kubanga buli lwe babasosola baggwamu amaanyi ekibaleetera okutendewalirwa.

Ono ategeezezza nga bwe yaboolebwanga awaka nga buli kimu akozesa kikye ky'agamba nti kyali kikyamu kubanga kyamuleeteranga okwennyamira.

Katende era asabye gavumenti okwongera amaanyi mu kubudaabuda abantu abalina akawuka ka mukenenya kubanga kubanga kibayambako okubakuuma nga basanyufu.

 

 

Tags:
Philly Lutaaya
okwekuuma
mukenenya