Amawulire

Bagguddewo ekizimbe ky'abasibe ekipya okukendeeza ku mujjuzo

MU KAWEEFUBE w'okukendeeza omujjuzo mu makomera, ab'ekitongole kino, baliko ekizimbe ky'ekkomera ly'abasibe abawera nga 200 , kye baguddewo e Isimba Prison farm e Masindi.

Bagguddewo ekizimbe ky'abasibe ekipya okukendeeza ku mujjuzo
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

MU KAWEEFUBE w'okukendeeza omujjuzo mu makomera, ab'ekitongole kino, baliko ekizimbe ky'ekkomera ly'abasibe abawera nga 200 , kye baguddewo e Isimba Prison farm e Masindi.

 

Kiguddwawo Assistant Commissioner General of Prisons, Milton Tiyo ng'awerekerwako Gerevase Tumuhimbise nga ye kamiisona w’amakomera avunaanyizibwa ku bya Engineering , ne Moses Atina akulira ffaamu eyo.

 

Ekizimbe kizimbiddwa Prison Engineering Gang,  nga kirimu ebisenge ebinene bibiri nga buli kimu kyakubeeramu abasibe 100 era nga mulimu kaabuyonjo ennungi, ebinaabiro, ebifo we booleza engoye.

 

Kitegeezeddwa era nti kuliko eddwaliro mwe bajjanjabira abasibe n'abantu abalala. Tiyo, asabye abasibe okwongera okubeera abayonjo , ab’empisa , okwongera okubanguka mu bukodyo bw'okulima n'okulunda mu ffaamu eno eyatandikibwawo mu 1962 ng'evaamu ensawo za Kasolo 10,000 buli sizoni nga kuliko n'ente eziwera nga 698.

 

Omujjuzo mu makomera, guzze gukendeezebwa mu bitundu nga Rwimi, Isingiro, Amita, Bubulo, Masafu, Lira, Luzira women, Rukungiri, Ngogwe , Mityana ne Yumbe oluvannyuma lw'okuzimba ebizimbe

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Isimba Prison farm
Masindi
Kiguddwawo Assistant Commissioner General of Prisons