OKYASANGA abantu abasiba peevaasi oluggya lwonna ne balemwa okusimba omuddo, ebimuli oba omuti gw’ekibala oguleeta kiragala awaka ku bbali.
Amelia Momo Masiko omukugu mu by’okutegeka amaka agamba nti waliwo ensobi abantu ze batasaana kuddamu kukola mu mpya zaabwe mu 2023.
Oluggya ne bwe lubeera lutono lutya lulina okubeerako ennimiro y’ebibala, oluggya awatambulira emmotoka n’omuddo we musobola okutuulako ne muwummulira.
Alina oluggya olugazi weetaaga okwawulamu ebifo ebiwerako okuli; abaana we bazannyira, akalimiro k’ebibala, ekifo we mutuula nga tewatuukawo mangu magulu
ga njuba butereevu.
Ebifo ebirala byolina okukakasa nga weebiri ly’ekkubo ly’abeebigere ne batatambulira
mu muddo, ekifo awasimba emmotoka.
Mariah Kiwagama omukugu mu kutegeka amayumba agamba nti ku muntu eyeesobola mu luggya bw’ossaamu fountain obeera waamulembe.
Mu luggya kakasa nga mulimu amataala agaleeta ekitangaala n’ebibumbe. Amataala gasaana gabeere mabbali g’ekkubo kuba gayambako okunyumisa ekifo.
Akalimiro k’ebimuli tekalina kwesuula nnyo mu maaso g’oluggya, amaaso we gatuukira
nga waakatuuka awaka. Osobola n’okukateeka emabbali ku kikomera.
Oluggya lwonna lulina okuba nga lulimu ekifo awatuukira amaaso mu bwangu. Wano osobola okussaawo ekibumbe, omuti oba ‘Rock garden’.
Jane Nambuusi, atunda ebimuli ebisimbwa mu luggya agamba nti kyetaagisa okwegendereza ebika by’omuddo gwosimba n’osimba omuwangaazi, ebimuli ebirungi
n’emiti egirina emirandira egikula nga gidda wansi ne gitanjaala ku mabbali kukosa nnyumba.
Bwe kiba kisoboka sooka okebeze ettaka okakase nti lisobola okumerako byoyagala okusimbamu. Kirungi okulissaamu ebigimusa era okakase ng’ekifo kifuna
bulungi ekitangaala ky’enjuba.
Osaana okufuna ebisuwa ebyawundibwa obulungi ebisobola okukyusibwa okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Ekimera kennyini olina okufaayo ku nkula yaakyo
ne langi zaakyo.
Ekimera ekirina ebimuli ebitono ebya langi kitera nnyo okunyumira awaka. Ekirungi ky’ebimuli osobola okubifuna mu bifo ebiwerako kuba waliwo ababitundira ku mabbali
g’enguudo, ababitundira ku nnimiro awamu n’ebifo ebirala mu kibuga Kampala.
Obulungi bw’ekimuli bwokka tekimala kukikuguza kuba birina emize egy’enjawulo gye byeyisaamu.
Weetaaga okukola okunoonyereza okusingawo n’ozuula oba nga tekirina bulabe. Waliwo ebimu nga bivaako empumbu etali nnungi ate ebirala tebigumira
nkyukakyuka mu mbeera ya budde.