Bya Steven Kiragga
Omusajja, mukazi we gwe yasuulidde omwana olw’okubeera ng’atawaanyizibwa ekirwadde ky’ensigo ne birwadde ebirala alaajanidde abazirakisa okumudduukirira, afune obuyambi okwejjanjaba ssaako n’okulabirira omwana we.
Mukisa John Mark 27, omutuuze we Nansana - Kyebando y’asula ku teebuukye olwa mukyala we okumusuulira omwana ow’emyezi 8 kyokka ng’ embeera y’obulamu bwe eyongera okwonooneka olw’ebirwadde eby’enjawulo ebimutawaanya.
Ono agamba nti omwaka oguwedde yafuna okulumizibwa mu kifuba ne mu lubuto wabula kyamubuukako abasawo bwe bakamutema nti ensigo ze ndwadde era nga n’omutima guliko ebirwadde.
Yagasseeko nti abasawo bamutegeeza nga bwe kimwetagisa obukadde 600 atwalibwe e Buyindi akyusibwe ensigo wabula nga tamanyi waakuziggya kuba n’ekyokulya kibabula.
Yawanjagidde abantu bonna okumudduukirira mu ngeri yonna esoboka abasobole okulabiriira omwana we era afune n’obujjanjabi obw’enjawulo adde mu bulamu obweyagaza.
Mukisa agamba nti okuva mukyala we lwe yategeera nti takyasobola kukola okubeezaawo amaka ssaako embeera y’obulwadde obumutawaanya, yasalawo okumusuulira omwana ye n’agenda ku bibye.
Yayongeddeko nti ekirala ekisinga okumwewanisa omutima ye landiroodi amulaliika okumugoba mu nnyumba kuba amubanja ebbanga lya mwaka mulamba kyokka nga talina ssuubi lyakuva mu mbeera eno okuggyako nga bamuddukiridde.
Yasabye abalina obuyambi okumudduukirira ku 07003749961/0787478262.