Amaze emyaka 60 nga tanaaba afudde

OMUSAJJA eyasalawo okweg­gya mu banne abeere mu bu­lamu obubwe yekka afiiridde ku myaka 94 oluvannyuma lw’okunaaba omulundi gwe ogusoose mu myaka 60.

Amou Haji ng’akoleezezza ‘emiti’ ena omulundi gumu..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#amaze #emyaka #tanaaba #afudde

TEHERAN, Lwamukaaga

OMUSAJJA eyasalawo okweg­gya mu banne abeere mu bu­lamu obubwe yekka afiiridde ku myaka 94 oluvannyuma lw’okunaaba omulundi gwe ogusoose mu myaka 60.

Amou Haji yagaana okukozesa ssabbuuni wadde amazzi okumala emyaka 60 ng’atya nti, biyinza okumul­waza.

Omusajja ono enzaalwa ya Iran mu bukiikaddyo bw’eggwanga eryo mu kitundu kya Fars abadde yeekweka abatuuze obutamu­kaka kunaaba.

 

Okusinziira ku mawulire ga Irana aga IRNA gaategee­zezza nti, yagwa ku ndiri olu­vannyuma lw’ennaku ntono nga yaakamala okunaaba.

Mu mboozi gye yakola mu 2014, yategeeza omukutu gw’amawulire ogwa Tehran Times mu 2014 nti, emmere esinga okumuwoomera ye nnyama ya namunnungu era nti, yali asula mu mpuku ku kyalo Dejgah.

Emyaka gy’amaze nga tanaaba olususu lwe lwabadde lufuuse lwa bikampa. Era abadde alya n’ebinyamanyama ebivunze oba ebitayidde n’amazzi amacaafu.

Abadde anyumirwa nnyo okunywa emmindi n’enjaga era ng’ebiseera ebisinga abeera anyooka.