MINISITULE evunaanyizibwa ku nsonga z’omunda efulumizza olukalala lw’amannya ga Bannayuganda 25, abaagenda okukuba ekyeyo kyokka ne bakwatibwa nga kati bavundira mu makomera mu nsi ez’enjawulo.
Derrick Kigenyi, omwogezi wa Minisitule yasinzidde ku kitebe kya Poliisi e Nagulu ku Mmande, December, 2023, n’ategeeza nti, 22 ku bano kyazuuliddwa nga baawambibwa abayeekera mu ggwanga ly’e Burma (Myanmar), ate abalala ne baggalirwa mu Thailand ne Qatar, ku misango egyekuusa ku kukukusa ebiragalalagala.
Abali e Burma bavubuka okuli abawala bataano n’abalenzi 17. Kuliko Shamira Namugenyi, Flavia Zalwango, Brenda Kimuli, Faridah Nalwadda, and Jasent Mirembe Namutebi, Alex Ssebyala, Husama Messi Bbosa, Lawrence Yawe, Sulait Tumwine, Yusuf Lukyamuzi, Abdul Nassif Kiggundu, Alex Lubega, Brian Ssemuju, Joshua Kiggundu, Costant Muwonge, Akiram Musoke, Gideon Mwesezi, Lawrence Lauren Nabbimba, Elvin Eddie Kawuma, Andrew Micho Kalanzi, Claiba Ssemwogerere, ne Mahad Luyima.
Ate omuwala Margaret Nakawooya, bazadde be gwe babadde banoonya nga balowooza nti yali yabuzibwaawo, kizuuliddwa nga yakwatibwa n’aggalirwa mu kaduukulu ku byekuusa ku kukukusa ebiragalalagala, mu ggwanga lya Qatar.
Omu ku bazadde be ayitibwa Henry Lukyamizi, omutuuze w’e Bakuli-Mmengo yali yaddukira ku Poliisi y’e Bakuli, mu Kampala, n’aggulawo omusango ng’agamba nti omuntu waabwe yali yabuzibwaawo sinakindi nga yattibwa.
Michael Tumusiime, naye abadde anoonyezebwa aba ffamire ye kyazuuliddwa nga yakwatibwa n’aggalirwa mu kaduukulu mu ggwanga ly’e Qatar, oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’akukusa ebiragalalagala bye yali amize mu lubuto.
Kigambibwa nti ono yayitira ku kisaawe e Ntebe n’ayolekera mu kibuga Doha ng’akozesa ennyonyi ya kkampuni ya Qatar Airways namba QR 1388, nga November,10,2023.
Ffamire ye nabo baali baggulawo omusango ku Poliisi y’oku Jinja Road nnamba SD: 27/17/11/2023, nga bagamba yabula, kyokka kyabakubye encukwe okuwulira nti yakwatibwa ali mu kkomera, e Qatar, kubanga tebaamanya ku magenda ge.
Bano beegasse ku muwala Munnayuganda ayitibwa Ritah Naddunga, naye eyali anoonyezebwa aba ffamire ye nga balowooza yali abuziddwaawo kyokka ne kizuulwa nga yali yakwatibwa n’aggalirwa mu kkomera e Qatar, oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebiragalalagala, yazuuliddwa nga yasimbiddwa mu kkooti n’asingibwa omusango era n’aweebwa ekibonerezo kyakusibwa emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.
Ate munne Erias Kuddo, eyakwattibwa ku misango gy’egimu mu ggwanga lya Thailand, ye yasaliddwa emyaka 25, ng’ali mu kkomera nga naye awerennemba na misango gya njaga.
Wano gavumenti weyasinzidde n’erabula Bannayuganda okwewala abantu ababawudiisa ne babaggyako ssente nga babasuubizza okubatwala ku kyeyo kubanga abasinga baba beenoonyeza byabwe.
Wabula waliwo olukalala lw’amannya n’ennamba z’amasimu g’abantu abateeberezebwa okuba n’akakwate ku by’okukusa Bannayuganda era ng’abeebyokwerinda baatandise dda okugeekenneenya.
Abamu ku bo kuliko; Derrick Baluku, ali ku ssimu namba; +256771840087, Sarah Mirembe amanyiddwa nga Mukyala Kivumbi, nga mutuuze w’e Lungujja, mu Divisoni y’e Lubaga, akozesa essimu namba +256756511780, Shafiq Matovu Kolo, amanyiddwa nga Kkansala Bwaise I, ku ssimu namba +256705801576, Namuli Kolo, amanyiddwa nga Kkansala- Kanyanya-Kawempe, +256765621113, +256706568007, Brenda ali ku ssimu namba, +971506697355, ne ‘Done Deal’ ali ku ssimu namba +971586341566, n’Omuchina Joanna akozesa +971503568989.