Amaka g’Obwapulezidentigabawadde entandikwa

6th May 2025

ABAVUBUKA 700 okwetooloola Kampala, baakaganyulwa mu nteekateeka ya Special Youth Wealth Creation Programme, ewagirwa amaka g’obwapulezidenti n’ekigendererwa eky’okuyitimula abavubuka abakola obulimu obutandikirwako.

Ndase mu nkoofiira ng’ali n’abamu ku baafunye ebintu.
NewVision Reporter
@NewVision
70 views

ABAVUBUKA 700 okwetooloola Kampala, baakaganyulwa mu nteekateeka ya Special Youth Wealth Creation Programme, ewagirwa amaka g’obwapulezidenti n’ekigendererwa eky’okuyitimula abavubuka abakola obulimu obutandikirwako.
Pulogulaamu eno ekulirwa Faisal Ndase okuva mu maka g’obwapulezidenti n’ewagirwa avunaanyizibwa ku maka g’obwapulezidenti Jane Barekye yatongozebwa mu 2022 n’ekigenderwa ky’okuwagira abavubuka abakola obulimu obusookerwako nga babawa ebikozesebwa ng’ebyalaani, obuuma bw’emberenge, eng’ano, butto, obummonde ebyuma bya saluuni n’ebirala.
Mu nteekateeka eno Ndase aliko abavubuka 100 okuva mu Lubaga North baatwalidde ebikozesebwa mu bizinensi ze bakola okuli; butto, eng’ano, ebyalaani, dulaaya, obummonde n’ebirala basobole okwongera mu buzinenzi zaabwe nga bino byabadde ku Vox Loung e Nakulabye.
Nga tebannakwasibwa bintu byabwe baasoose kubangulwa mu nkwata ya bizinensi n’engeri gye basobola okukozesa ebibaweereddwa okugenda mu maaso era omukugu mu byenfuna, Daniel Mayombe n’abakubiriza okubala obulungi ebitabo bya bizinensi zaabwe n’okukwata obulung bakasitoma. Ndase yagambye nti abavubuka abasoba mu 700 be baakaganyulwa mu nteekateeka eno era n’ategeeza kigendererwa kusitula bavubuka abakola bu bizinensi obwabulijjo nga tesosola mu ndowooza za byabufuzi.
‘Omuntu waddembe okubeera ng’awulira aganyuddwa mu bye bamuwadde n’asiima pulezidenti Museveni ng’amuwa akalulu, wabula ffe bwetuba tuwandiika abanaaganyulwa tetusinziira ku kibiiina kya byabufuzi omuntu kya wagira,” bwe yagambye.
Abamu ku baaganyuddwa baasiimye Ndase n’amaka g’obwapulezidenti olw’enteekateeka eno nti yaakukola kinene okusitula embeera zaabwe.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.