OMUSAJJA aludde ng’ajingirira ebintu ebyefaananyiriza buto n’abiguza abasuubuzi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano bamukutte ne yeewaako obujulizi .
Isaac Matovu 31, ow’omu Kibe zzooni ye yakwatiddwa abakulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere III e Kawempe oluvannyuma lw'abasuubuzi abawerako okumwemulugunyaako nga bw’alina abavubuka bwe bajingirira obunzaali n'amazzi ne babiguzza abantu nti Butto , amazzi olumala okugateekamu obunzaali babiyiwa mu kadomoola ku ngulu ne bayiwako butto omutuufu.
Matovu omusango teyagwegaanye n'agamba nti baludde nga bajingirira ebintu ebyefaananyiriza Butto ne babiguza abantu nga nga bo akadomola ka butto liita ssatu ke batunda emitwalo 5 n’ekitundu bakatunda 25,000/=.
Matovu yagambye nti basinga kuguza abatambula nga bakolera mu bitundu eby’enjawulo mu Kampala okuli Lubaga, Makindye, Nakawa ng’ekitundu mwe baguzizza abantu kibatwalira ebbanga okuddaayo.
Okukwatibwa kwe kwaddiridde abamu ku bawooteeri mu Kaleerwe abazze baferebwa abatembeeyi bano okwekubira enduulu eri abakulembeze okuli Mood Kibe akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere III e Kawempe eyasudde enkessi n’asobola okukwata Matovu n’ayogera ebyama.
Mood Kibe yagambye nti abasuubuzi bangi n’abantu abalala abatambuze abazze bagula ebintu eby’enjawulo nga bijingirire ng'akabinja k'abavubuka bano kaludde nga kaguza abasuubuzi amazzi ge bataddemu obunzaali nti butto nga baludde nga babanoonya.
Yategeezezza nti bwe bamala okutunda obudomola nga butaano mu kitundu kibatwalira ekiseera okuddamu okuyitayo , yagasseeko nti ekyasinze okumwewuunyisa obusaanikira ku budomola mwe batambulzza amazzi nti buto buba busiiringe bulungi ng'akapya.
Juliet Nantume mu katale k’e Wandegeya yagambye nti olw'okuba ensangi zino ebyenfuna byadobonkana abasuubuzi bangi n'abantu abalala baagala nnyo eby’ebbeeyi layisi nga abavubuka tebakoma okwo batunda n'ebintu ebirala ebicupuli ng'obuwunga bwa ssoya , ssabuuni n'ebirala.
nga ye baamuguzaako ku buto 50000 yagenda okusumulula akadomola ng'amazzi galimu bunzaali naye ng'akasaanikira yakajjako nga kalinga akabeera ku butto omupya .