Alabudde ku basembebwa okuweereza Kabaka

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza lya Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandazi Matovu Ssaalongo asabye abaweereza b’obwakabaka okusemba abantu ab’ensonga abanaasobola okuweereza obulungi obwakabaka.

Omulezi w’essaza lye Kyaddondo, Shaban Jjingo (owookubiri ku kkono) n’omwami wa Kabaka owa Ggombolola ya Mumyuka Nakawa Ssalongo James Ssekitoleko (mu galubindi mu maaso) nga bali n’abamu ku baweereza
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza lya Kyaddondo Kaggo Ahmed Magandazi Matovu Ssaalongo asabye abaweereza b’obwakabaka okusemba abantu ab’ensonga abanaasobola okuweereza obulungi obwakabaka.

Buno bubadde bubaka Kaggo bwatisse omwami wa Kabaka ow’e Ggombolola ya Mumyuka Nakawa Ssaalongo James Ssekitooleko bw’abade aggalawo omusomo gw’abakulembeze mu Ggombolola ya Ssaabaddu Kira ku Mbuga yaayo esangibwa e Kira.

Kaggo Magandazi agambye nti waliwo abaami abaweebwa obukulembeze nga sibetegefu kuweereza bwatyo n’asaba abantu okusemba abantu abanaasobola okuwereza.

Abaweereza ba Kabaka mu Ggombolola ya Mumyuka Nakawa nga bakulembeddwa omwami wa Kabaka ow’eggombolola eno Ssaalongo James Ssekitoleko nabo baasomeseddwa ku ngeri gye bayinza okuweerezaamu obwakabaka.

Omusomo guno gwabade ku kkanisa ya St Yusuf Lugalama Bbuye- Kigoowa era nga gwakulembeddwa omulezi w’essaza ly’e Kyaddondo Shaban Jjingo wamu n’omulezi wessaza ly’e Buddu ne Mawokota, Alex Nakanjako nga bano baasomesezza abaweereza ba Kabaka obuvunaanyizibwa bwabwe ku buli mutendera kwe bali.

Baasomeseddwa engeri gye bayinza okukolamu fayiro z’ebitongole byabwe, engeri gye balina okutuuzaamu enkiiko mu bitongole mwe bali n’ebirala