Kintu ategeezezza Bukedde nga bw’amaze ebbanga kumpi lya myaka mukaaga, ng’alaajana olwa bannannyini ssomero lino erya Cornerstone Junior School abazze bakola buli ekisoboka okumugoba mu kifo kye oluvannyuma lw’okugaana ensimbi ze baali baamuwa, bwe baali baagala okugula ng’agamba nti zaali ntono nnyo okusinziira ku bunene bw’ekifo kye.
Kintu ng'alaga ennyumba z'agamba nti ziyitamu kazambi.
Ategeezezza nga kuno kwe bazze bagatta n’okumujwetekako emisango egy’ekimpatiira n’aggalirwa, ekizze nga kibawa omwagaanya okuyingirira ekitundu ku poloti ye ne bazimbako ebyabwe.
Kintu era annyonnyodde nti ekivundu ekiva mu kazambi ono, kigobye abapangisa be bonna n’okumwonoonera ennyumba ze era nga kati yeebuuza eky’okuzzaako.
Ono asabye ab’essomero okukyusa ekinnya kya kazambi oba si kyo batuule bakkaanye ku kya ssente ez’ekifo abaviire era n’alaajana ne ku bantandise okumwewerera okumutuusaako obulabe olw’okwekubira enduulu eri ba namawulire ekimuwalirizza okuggulawo omusango ku ffayiro nnamba SD REF 77/21/02/2022.
Ssentebe w’ekyalo kino John Jjingo ategeezezza nga Kintu bw’atamutuukirirangako yadde ow’olukiiko lw’ekyalo kino okuloopa obuzibu bw’alina, n’ategeeza nga bw’ali omwetegefu okumuyamba ssinga anaaba amutuukiridde.
Omu ku bavunaanyizibwa ku ssomero lino Musa Kidamba ategeezezza nga bwe bagezaako kyonna ekisoboka okugonjoola obuzibu buno.