Abantu 4 bafiiridde mu kabenje akagudde e Matanga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka .

Ddereeva wa Fuso yamunyize mu maaso n'emumalawo!
Akabenje kabaddemu mmotoka FUSO box body nnamba UBQ 238Q bw'etomereganye ne lukululana nnamba CGO 9638AF / 19 CGO 651AA Benzi ng'ebadde evugibwa Syaunswa Kanyamunyu nga y'omu ku bafiiriddewo.
Kigambibwa nti ebadde eva Masaka okudda e Kampala, bw'etuuse e Matanga ddereeva n'ayagala ayise kwe kwambalagana ne FUSO.

Lukululana eyeeyingiridde ne Fuso.
Abafudde, kuliko abasajja basatu mu Fuso ne ddereeva wa tuleera ate omuntu omu n'alumizibwa ali mu ddwaaliro e Masaka.
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, agambye nti okunoonyereza ekivuddeko akabenje , kugenda mu maaso.