Bya Musa Balikoowa
ENTIISA ebuutikidde ekyalo Butema mu Town Council y'e Muwayo mu Bugiri, mmotoka mukaaga bwe zitomeraganye abantu 14 ne bafiirawo, omu n’addusibwa mu ddwaaliro ly'e Bugiri ng'ataawa.
Akabenje kaaguddewo ku ssaawa nga 4:00 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo, emmotoka mukaaga okuli; lukululana nnya ne kamunye bbiri bwe zaatomereganye nga ziyisihhana. Emmotoka ezaakoze akabenje kuliko eya ttuleera nnamba No. KDH 407T, ttuleera nnamba UAV 579N, ttakisi nnamba UAW 963M n’endala.
RDC wa Bugiri, Paul Mwidu Kalikwani eyakedde ku ggwanika e Bugiri, yagambye nti yasanzeeyo emirambo 10. Kyokka bwe yatuuse awaagudde akabenje abatuuze ne bamutegeeza nti olw’okuba poliisi yaluddewo okutuuka, waliwo abazze ne baggyayo emirambo gyabwe ena ne bagitwala.
Abamu ku baafudde kuliko; Juliet Bakulimya abadde kkansala w’eggombolola y'e Buluguyi ku disitulikiti, Yosamu Wasike ow'e Busia, Hajara Nandego ow'e Muterere, Munnakenya Jemus Kitavewo, Shalif Sempijja (Muwayo) Joyce Nabirye (Busia) Antony Mulokole (Muwayo) n’abalala abaabadde batannategeerekeka.
Abaabaddewo ng’akabenje kagwawo bagamba ttakisi bbiri ezaabadde ziva e Bugiri nga zigenda Busia zaabadde ziwenyuka buweewo nga buli emu erwana esooke ku siteegi y'e Muwayo. Eyabadde mu maaso nnamba UAW 963M yayisizza ttuleera bbiri nazo ezaabadde zigenda e Malaba.
Nga zaakayisihhanya gye zaasanze ttuleera endala bbiri ezaabadde zidda e Bugiri. Olw’okuba zonna zaabadde zidduka, zaayambalaganye emu n'ekwata omuliro n’ebengeya.
Poliisi y'e Bugiri oluvannyuma lw’ebbanga eggwanvu, yaggyeewo emirambo 10 n’egitwala mu ggwanika ly'eddwaaliro e Bugiri. RDC Kalikwani obuzibu yabutadde ku bavugisa ekimama ne waasiwaasi n’agamba nti osanga singa mmotoka zaabadde tezidduka nnyo nga ne ttakisi tezikola waasiwaasi, akabenje tekandiguddewo.
Yanenyezza n’abaserikale ba ttulafiki abasabiriza abantu ssente ne balemwa okwekebejja embeera z’ebidduka n’okukakasa nga baddereeva balina ebisaanyizo. Yavumiridde n’abasaba abantu ssente okuggya emirambo gyabwe mu ggwanika.
Omwogezi wa poliisi mu East Busoga, Diana Nandaula yagambye nti ensonga y’akabenje kano yatwaliddwa bakama be ab'e Kampala era be balina okugyogerako.