Omuntu omu afiiriddewo n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde mu mugga Pamujjugu e Mityana.
Akabenje kano kabaddemu mmotoka ekika kya Canter nnamba UBJ 494H ebadde eva e Mityana okudda e Mubende, bw'eremeredde ddereeva waayo n'egwa ne yeevulungula emirundi egiwerako.
Ddereeva w'emmotoka eno Felix Kaganda 2,6 era ng'abadde mutuuze w'e Kazinga e Kasangati afiiriddewo ate abalala babiri okuli Reagan Ssekandi 27, ne Enock Kanyike 22 bonna nga b'e Kazinga , balumiziddwa era bali mu kufuna bujjanjabi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti akabenje kandiba nga kavudde ku kuvugisa kimama.