Omusajja Vincent Anorld Nsamba ng’oluusi yeeyita sitenda agambibwa okutta omuyimbi Moses Matovu azziddwa mu kkomera, olw’okuba omulamuzi ali mu musango gwe taliiwo.
Nsamba 47 abadde akomezeddwawo mu kkooti e Makindye okuwulira okunoonyereza we kutuuse era aleeteddwa ab’amakomera wabula tasimbiddwa mu kkooti kubanga omulamuzi Ann Sarah Basemera ali musango tabaddewo olwo n’aweebwa olwa December 12,2026 lw’agenda okuzzibwa mu kkooti okuwulira okunoonyereza we kutunaaba kutuuse.

Nsamba mu kaguli ka kkooti
Oludda oluwaabi lugamba nti nga September 24, mu Market B zzooni e Kibuli mu munisipaali y’e Makindye mu Kampala n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwako yatta Moses Matovu.
Kigambibwa nti Nsamba okutta Matovu waaliwo enkaayana ku muwala Rose Tumusiima eyali muganzi wa Nsamba ate n’amusanga ne Matovu.