POLIISI ekoze ekikwekweto mw’ekwatidde mmotoka ebadde etambulizibwamu ente enzibe gye babadde bagitwala kugibaaga bamale bagitunde.
Kino kyaddiridde poliisi y’e Kasangati okukola ekikwekweto okufuuza abamenyi b’amateeka mu bitundu by’e Kibajjo, Obama zzooni, Muwala, ebiri mu muluka gwa Nalusuga wamu ne mu Kiteezi oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya nga abamenyi b’amateeka bwe basusse.

Mutta eyakwatiddwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti ekikwekweto kino kyakoleddwa nga October 21, 2026 nga kyagendereddwamu okukwata abeenyigira mu bikolobero omuli eby’okuteega abantu , okumenya, amayumba n’ebirala
Yagambye nti wakati mu kikwekweto abaserikale baayimirizza mmotoka namba UAN 223C Toyota Ipsum oluvannyuma lw’okujeekengera nti yandiba nga yabadde erimu ebintu ebibbe bye yabadde etwala kuba obudde bwabadde bwa kiro.
Yategeezezza nti okwetegereza ebyabadde munda mu mmotoka abaserikale baalabye nga mulimu ente ennamu eyabadde esibiddwa emiguwa wabula nga eyabadde agibbye Vincent Kinobe amanyiddwa nga Muntansava yadduse ng’abaserikale bamunoonya.
Yagambye nti mmotoka n’ente byatwaliddwa ku poliisi ye Kasangati nga okunooya Kinobe bwe kugenda mu maaso asobole okuvunaanibwa omusango gw'okubba ente.
Yagasseeko nti mu kikwekweto ekyakoleddwa poliisi yakutte abantu 16 n’ebaggalira ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.