OBUFUMBO bwa Dr. Kluthum Nabunnya Muzaata ne nkubakyeyo Ying. Acram
Gumisiriza Oweeriiso, obumaze emyaka esatu abamu aabwogerako ng’obutaali bwa
kuwangaala.
Ababiri bano baawoowebwa mu muzikiti gwa Kampalamukadde, oluvannyuma ne basembeza abagenyi baabwe mu wooteeri ya Mestil e Nsambya. Ekimu ku byasooka okukanga abagenyi abeetaba ku mbaga, kwe kuba nga buli omu emmere
yagyesasulira ku 100,000/- essowaani, era abaali bazze nga tebeetegese tebaakomba ku
kyakulya.
Ng’embaga tennabaawo, Kluthumyasooka kwanjula bba mu maka ga bazadde be, e Kyanja era ku mukolo ogwo yamutonera n’emmotoka n’ebirabo
KU BOMBI ANI YASALA MUNNE?
Dr. Kluthum, mukazi muyivu era alina ne diguli eyookusatu nga yagifunira mu yunivasite e Makerere. Mu kiseera kino dayirekita w’ebyenjigiriza mu KCCA.
Ng’oggyeeko ekyo, alina essomero lya Anwar Primary School e Wakiso, ssaako ekibiina ekidduukirira abakyala n’abaana abawala. Acram kigambibwa yinginiya naye obukugu bwe tewali abukakasa wadde gye yasomera.
E South Africa gye yali abeera we yakwataganira ne Kluthum, ababeerayo tebakakasa wa gye yakoleranga bwayinginiya. Mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenda ne Kluthum, wabula ye (Acram) n‘alemerayo.
Mu kiwandiiko nnamutaayiika Kluthum kye yafulumizza ng’alaga okunyolwa olw’okusalawo okwawukana ne Acram, yategeezezza nti, yalabirawo obubonero
obulaga ebizibu mu mukwano gwabwe, wadde nga yasalawo