Yagambye nti balina okukakasa nti bamalawo emize gy'obumenyi bw'amateeka obuleetebwa abaana naddala mu kiseera nga kino nga bavudde ku masomero.
Wanyama ategeezezza nti abakulembeze balina okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe naddala nga bayita mu bazadde b'abaana bano kubanga be bawangaala nabo mu biseera we babeera nga tebali ku masomero.
Ssentebe Wanyama ng'annyonnyola.
Wanyama asabye abazadde okukimanya nti abaana bano baffe nga bubeera buvunaanyizibwa bwaffe fenna. Ayongeddeko nti abazadde basaanye bakimanye nti buli omwana lw'aweebwayo mu b'obuyinza n'akangavvulwa kibeera kimuyamba n'okuyamba abalala kubanga akula nga muntu wa buvunaanyizibwa.
Kyokka era asabye abantu bonna okwekuuma naddala nga tebatambula mu matumbibudde kubanga eby'okwerinda bitandikira ku muntu ssekinnoomu nga bw'abeera teyeekuumye kiwa omwagaanya n'abamenyi b'amateeka okubatigomya.
Anenyezza nnyo abazadde abeesuulirayo ogwanaggamba nga tebafa ku baana obuvunaanyizibwa ne babulekera abasomesa ky'agamba nti kino kikyamu. Asabye abayizi bonna okukozesa omukisa gw'oluwummula bejjukanye mu bye baasoma kibayambeko okwekuumira awaka n'okwetangira obubenje obuyinza okuva mu kutaayaaya.
Comments
No Comment