ABATUUZE b'e Kawempe mu Kirokole zooni basabye ekitongole kya KCCA okubayamba mu kugonjoola ekizibu kya kasasiro gwe bagamba nti avuddeko eby’obuyonjo okusereba.
Baagala KCCA ebasindikire mmotoka ezisobola omutwala n'okussaawo enkola y'okufuuyira ebiku ebisusse.

Omutuuze ng'aggya kasasiro mu mufulejje. Ku ddyo ye Hajjati Buzeki
“Mu Kirokole wano twesanze mu kusoomoozebwa nti kasasiro asusse okubeera mu bantu nga kino kivudde ku kubeera nti abalina okumutwala balwawo bwe tubuuza bagamba nti mmotoka ntono kati tusaba KCCA etunule mu kino kuba obucaafu bususse,” Kibuga bwe yabuulidde akulira KCCA, Hajjati Shalifa Buzeki eyabadde akulembeddemu Weyonje mu kitundu kino.
Yategeezezza nti okuwana ekizibu kya kasasiro KCCA ebasindikire mmotoka eziwerako zisobole okumusomba ekizibu kino abatuuze bakiwone.
Akulira KCCA Hajjati Sharifa Buzeki yategeezezza abatuuze nga KCCA bwe yafunye ssente okuva mu gavumenti okugula mmotoka ezisomba kasasiro 5 bazongere ku 34 eziriwo.