Ab'oludda oluvuganya baagala Gavumenti erowooze ku bannansi abayinza okkosebwa olutalo lwa Israel ne Iran
Apr 17, 2024
OLUDDA oluvuganya mu palamenti lwagala minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okuyisa ebiragiro ebirabula bannayuganda mu mawanga g’e Buwarabu (Middle East) okubeera bulindaala olw’olutalo wakati wa Israel ne Iran obutafiirwa bulamu bwabwe yadde okukosebwa
Muwadah ng'annyonnyola
OLUDDA oluvuganya mu palamenti lwagala minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okuyisa ebiragiro ebirabula bannayuganda mu mawanga g’e Buwarabu (Middle East) okubeera bulindaala olw’olutalo wakati wa Israel ne Iran obutafiirwa bulamu bwabwe yadde okukosebwa.
Mu lutuula lwa bannamawulire lwayise ku palamenti, Minisita ow’ekisirize avunanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Nkunyingi Muwada (Kayadondo East) agambye nga olutalo lugenda maaso, obunkenke bungi nga gavumenti esaanye okutema empenda okugyayo bannansi n’okubalabula wa gyebatekeddwa okuddukira mukadde kano.
Ono era asabye ekibiina ky’amawanga amagatte ekya United Nations okubaako kye kikola okutabaganya amawanga gano abiri basuule eby’okulwanyisa kubanga bassaalumanya bangi bayinza okukafiiramu.
No Comment