Minisita omubeezi ow’obutebenkevu era nga ye mubaka wa Rujumbura mu Palamenti, Maj Gen Jim Muhwezi asabye abawagira oludda oluvuganya okwegatta ku kibiina kya NRM basobole okufuna ebirungi bye banoonya.
Muhwezi yasinzidde mu muluka gwe Kikongi mu disitulikiti ye Rukungiri bweyabadde amaliriza okukyala kwe mu ggombolola ye Bwambara ssaako okukunga bannakibiina kya NRM okumutekamu obwesige okumulonda mukamyufu k’ekibiina akagenda okubaawo ku Lwokuna nga July 14, 2025.

Jim Muhwezi ng'ali ne bannakibiina kya NRM
“Eggwanga lyaffe tulabye ebintu eby’enjawulo ebikoleddwa mu Gavumenti ya Pulezidenti Museveni n’ekibiina kya NRM. Nsaba tuggyewo enjawukana ffenna twegatte tumuyiire obululu ssaako n'ababaka be mukulonda okujja kwa 2026.” Muhwezi bweyayongeddeko.
Yakuutidde abantu okwewala eby’obufuzi eby’obukyayi wabula babeere mu by’obufuzi ebibakulakulanya ate nga betaba mu nteekateeka za Gavumenti ez’enjawulo kibayambe okuwagira abantu be bagala ate nga bwebongera nekunnyingiza mumaka.

Jim ng'ali ne bannakibiina kya NRM
Ye ssentebe w’eggombolola ya Bwambara Chris Kagayano yategezezza nti ebintu okuli amasannyalaze, enguudo okukolebwa, okusembeza amazzi, ssaako n’okuwa abantu ssente za PDM n’emyooga bibasanyudde era nti bakulonda Pulezidenti Museveni ne Muhwezi mukulonda okujja.
Yagaseeko nti olw’okuba eby’okwerinda mu disitulikiti ye Rukungiri biri ggulu ggulu, tebafuna ngayo bukyankalano bwonna era basuubira nti enteekateeka z’okulonda zonna mu disitulikiti zigenda kutambula bulungi.
Muhwezi avuganya ne Frank Arinaitwe mu kamyufu k’ekibiina nga kuno kwe kunaava anaakwatira NRM bbendera mukulonda kwabonna mumwaka gwa 2026