Amawulire

Abekika ky’Emmamba Kakoboza basattira lwa ttaka lya mbuga yaabwe eritwalibwa

BAZZUKULU ba Nankere ab’Emmamba Kakoboza basattira olw’abagagga abatandise okusenda ekifo awali embuga yaabwe enkulu e Nkajja ekisangibwa mu muluka gw’e Kakiri mu Ggombolola y’e Kikandwa mu Wakiso.

Abemmamba ku ttaka lyabwe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BAZZUKULU ba Nankere ab’Emmamba Kakoboza basattira olw’abagagga abatandise okusenda ekifo awali embuga yaabwe enkulu e Nkajja ekisangibwa mu muluka gw’e Kakiri mu Ggombolola y’e Kikandwa mu Wakiso.
Embuga eri mu lusuubo y’eyomutuba gwa Kangalanda eyaliko obugazi bwa yiika 15 kyokka ng’abazzukulu we baviiriddeyo nga esigaddeko yiika mukaaga zokka.
Bazzukulu ba Wasswa Nekemia eyali omukulu w’omutuba be baavuddeyo okwekubira enduulu eri be kikwatako omuli ofiisi y’akulira eby’ennono n’obuwangwa mu Bwakabaka ne minisitule y’ebyobulambuzi mu gavumenti eya wakati.
David Nsubuga omu ku bazzukulu yagambye nti embuga yaabwe ey’enkizo awasangibwa ejjinja lya njove ne Namutebi, Kabaka w’atuuzibwa ng’agenze ewa Nankere baagisibira mu ffaamu y’omukyala ayitibwa Sheila ng’ono bba yali yaweebwa liizi ku ttaka lino.
Abazzukulu balumiriza nti liizi yaggwaako dda nga kati beewuunya engeri omukyala ono gye yajja okufuna ebyapa ku ttaka okuli ebifo byabwe ebyembuga n’ennono.
Frank Mubiru eyakiikiridde atwala embuga eno alumiriza omukyala ono okubaleetera abaserikale ne babakwata ne babasiba n’aleeta guleeda eyasenda ebirime byabwe.
Ettaka lino kuliko n’ebiggya ebiwera musanvu era nga nabyo bye bimu ku byolekedde okusendebwa singa tewabaawo kikolebwa.
Ssentebe w’ekyalo, Ssaalongo David Nyanzi yagambye nti omukyala ayogerwako amumanyi wabula tamumanyi nga nnannyini ttaka lino.
Sheila bwe yatuukiriddwa ku ssimu ensonga yazeebalamye bwe yategedde nti abamubuuza baamawulire

Tags: