Amawulire

Abeebijambiya batemyetemye omusuubuzi ne bamunyagako bukadde e Sironko

ABABBI ab'ebijambiya, balumbye omusuubuzi mu dduuka, ne bamutema ebiso ku mutwe n'emikono ne bamuleka ng'azirise, n'oluvannyuma ne babulawo n'omuwendo gw'ensimbi ogutannamanyika.

Abeebijambiya batemyetemye omusuubuzi ne bamunyagako bukadde e Sironko
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABABBI ab'ebijambiya, balumbye omusuubuzi mu dduuka, ne bamutema ebiso ku mutwe n'emikono ne bamuleka ng'azirise, n'oluvannyuma ne babulawo n'omuwendo gw'ensimbi ogutannamanyika.

Obunyazi , bubaddewo ku ssaawa nga 7:30 ekiro, bwe balumbye Anania Muyiya 42, ku kyalo Nadiso B mu ggombolola y'e Buwalusi mu disitulikiti y'e Sironko ne bamutema ku mutwe ne ku mikono, oluvannyuma ne babba ssente.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, Samuel Kiriga , asobodde okutemya ku poliisi era nga bali wamu ne baliraanwa, bamudusizza mu ddwaaliro e Mbale, gy'ali mu kufunira obujjanjabi.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti tewannabaawo akwatibwa, naye ng'omuyiggo gw'abanyazi bano, gugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Sironko
Ssente
Musuubuzi
Mbale
Kutema