Amawulire

Ab'e Mpigi ne Kammengo basiimye Museveni ku kkole

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti y’e Mpigi n'eggombolola y’e Kammengo balambudde ettaka eryaweebwa musigansimbi azimbeko ekkolero ly’ebijimusa ebiva mu busa bw’ente ne basiima Pulezidenti Museveni okulengera ewala  n’asalawo kkampuni eyo okukolera mu kitundu kyabwe.

Ab'e Mpigi ne Kammengo basiimye Museveni ku kkole
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti y’e Mpigi n'eggombolola y’e Kammengo balambudde ettaka eryaweebwa musigansimbi azimbeko ekkolero ly’ebijimusa ebiva mu busa bw’ente ne basiima Pulezidenti Museveni okulengera ewala  n’asalawo kkampuni eyo okukolera mu kitundu kyabwe.

 

Sipiika w’olukiiko olufuga  disitulikiti ya Mpigi, Ronald Kaggwa Kibirige akulembeddwa ssentebe wa ggombolola y’e Kammengo Sam Akollo Ssonko . Babadde ne bakansala ne basisinkana musigansimbi Jean Luc Bigirimana ku ttaka e Kampiringisa nga April 21 2026.

 

Ssentebe Sam Ssonko yabuuzizza Musigansimbi nti ekitundu kyabwe kigenda kufunamu kitya era ekkolero lirina nteekateeka ki empanvu eri ekitundu n’eggwanga lyonna?!.

 

Musigansimbi yabannyonnyodde nti eggwanga lyatandika dda okumufunamu n’ekitundu kyokka era singa anaamaliriza okuzimba ekkolero ebyobulimi bigenda kutumbuka mu Mpigi n’eggwanga okutwaliza awamu.

 

Bigirimana yabalaze pulaani ng’asuubira okuwa abantu b’omu kitundu abasoba mu 1000 emirimu kubanga abaatandika edda okukola basoba mu 100 ate nga ekkolero terinnaba kuggulibwawo mu butongole. Yabalaze nti agenda kugula n’okuwaanyisiganya n’abalunzi abalina obusa bw’ente abaweemu omuddo gwe yatandika edda okukola.

 

Yabategeezezza nti amalirizza okusima amazzi agagenda okukozesebwa mu kkolero g’agenda okuwaako n’abatuuze. Yabalaze enguudo z’akoze okwetoloola Kampiringisa, n'agamba nti agenda kuyamba n’okuliisa ssaako okutumbula ekifo ky’eggwanga ekirabirira abaana b’e Kampiringisa.

 

Yinvesita ono era ataddewo ennimiro ez’omulembe mw'agenda okusomeseza abalimi n’abalunzi ennima ey’omulembe, gattako okugabira abalimi endokwa z’ebisagazi n’omuddo oguliisa ente okukakasa nti baliisa bulungi ebisolo byabwe.

 

Bigirimana yagambye nti amakubo agagenda okuyitamu abatuuze gagenda kukubwa kolansi kiyambe ettaka mu kitundu okulinnya bbeeyi . Yategeezezza nti ekimukeereyezza kyokka y’ensonga y’ettaka Pulezidenti Museveni lye yamuwa eriweza yiika 130 kyokka bwe baali balimukwasa ate baamuwa yiika 100, n'ayongerako nti okusinziira ku bugazi n’obunene bwa kkampuni ssaako ebintu by'agenda okukolamu ebigimusa yeetaaga yiika zonna Pulezidenti ze yayogerako.

 

Bino byasanyusizza sipiika w’e Mpigi Ronald Kaggwa Kibirige ne ssentebe Ssonko ne basaba abalemedde ku ttaka balimuwe era baagala kkampuni ebayambe emalirize ekkolero waakiri mu myezi mukaaga gyokka batandike okufuna ebijimusa.

 

Nga August 04 2023 , musigansimbi Adrien Ntigaciga nnannyini kkampuni ya Itracom , alina amakolero agenjawulo e Tanzania ne Burundi ne mu mawanga amalala , yasisinkana  Pulezidenti Museveni   n'amwanjulira pulaani ye ey'okukola ebijimusa okuva mu butonde  nga busingamu kirungo kya busa bwante.

 

Yalaga Pulezidenti engeri ekkolero gye ligenda okusitula eby’obulimi n’obulunzi kubanga obusa bw'akozesa agenda kubugula ku balunzi ba nte nga bw'abawa  omuddo gwamaze okukolako obulungi n’okugusiba mu makutiya eri abo abatayagala ssente mu busa bwabwe.

 

Kino kyasanyusa Pulezidenti n’awandiikira Katikkiro Robinah Nabbanja  ebbaluwa nga October 12 2023, n’amwanjulira enteekateeka ya musigansimbi ono nti nnungi kubanga okukozesa ebijimusa kati tekikyali kya kwe yagalira wabula kyabuwaze olwengeri ettaka gye lyeyongedde okuggwamu obugimu.

 

Mu bbaluwa Pulezidenti Museveni gye yalaga Nabbanja nti eggwanga lisaasaanya  ssente za America obukadde 300 buli mwaka ku bigimusa okubigula mu Bazungu era ekkolero bwe lizimbibwa mu ggwanga ate nga ligenda kukolera wano kyaliyambako.

 

Ebbaluwa era yalaga nti mu myezi mukaaga okuva mu January okutuuka mu June 2023, baalagiriza obungi bw’ebijimusa  okuva mu mawanga g’ebweru ebiweza ttani 150,000 era omwaka gwonna ogwo baalagiriza ebigimusa ebiweza ttani 300,000 ate nga obwetaavu busigaddewo mu bantu n’agamba nti n’okwesigama ennyo ku kugula ebintu ebweru w’eggwanga kyabulabe.

 

Pulezidenti yalaga nti bwe yali alambula ebitundu by’e Masaka, abalimi b’emmwaanyi n’ebinazi baamulaajanira abakendeereze ku ssente z’ebijimusa nti biri ku buseere nnyo tebakyafuna makungula malungi n’alaba baali batuufu .

 

EBIRAGIRO;

 

  • Pulezidenti yalagira Katikkiro Nabbanja nti akkirizza okusaba kwa musigansimbi okutandikawo ekkolero ly’ebigimusa erikozesa obusa bwe ente n’ebigenderako  byonna mu Uganda mu bwangu ddala kitaase abalimi n’abalunzi.
  • Yalagira Nabbanja akwatagane ne minisitule ezenjawulo okulaba nti musigansimbi ono aweebwa yiika z’ettaka 130 e Kampiringisa ku ttaka ly’ekikula ky'abantu , abakozi n’enkulaakulana  azimbeko ekkolero n’ebikozesebwa byonna okuyimirizaawo ekkolero ate ne Minisitule y’eby’ettaka ekole ku by’okumuwa liizi amangu ddala atandike okuzimba.
  • Yalagira Minisitule y’enguudo, ey’amazzi, ey’obutonde bw’ensi, ey’amagezi ag'ekikugu n’ey'obugagga eby'omu ttaka bamukolere ekyetaagisa naddala okutema enguudo, okukola ku mazzi n’ebigenderako.
  • Ku kusasula omusolo, Pulezidenti yalagira nti nga kkampuni eno bw'esoose mu Uganda,  bamuyambeko okulaba nti takaluubirizibwa era bamuwe obudde obuwanvu waakiri ebbanga lya myaka 20 ate nga bwe beetegereza.
  • Pulezidenti yalagira nti nga kkampuni bw'egenda okukozesa obusa bw’ente, Minisita atwala eby'obulimi n’obulunzi ayambe okutereeza abalimi n’abalunzi naddala mu bitundu by’olukoola nga bayita mu nkola ya SACCO z’okumiruka bayoole ssente mu kuguza kkampuni eno obusa bw'egenda okukozesa.
  • Ku by’obugagga ebisimibwa mu ttaka okuli Phosphate, Potassium, ne Nitrogen ebyongerwa mu busa ne bukola ekigimusa ekyenjawulo eky'obutonde, yalagidde Minisitule evunaanyizibwa ku by'obugagga ebyomutaka bamukkirize asobole okukolera abalimi ebigumusa.

Abakulembeze olubiwulidde ne basaba Gavumenti emuwe buli kimu kkampuni ebazimbire ekkolero.

Tags:
Museveni
Mpigi
Kammengo
Jean Luc Bigirimana