Essanyu baliraze, oluvannyuma lw’eddwaaliro lya Double Cure Hospital Mpigi, eribadde lizimbibwa mu kitundu okuggwa ne batuusa ebyuma eby’omulembe ebigenda okukozesebwa okuyamba abantu.
Eddwaaliro nga bwe lifaanana
Kkonteyina y’ebikozesebwa mu malwaliro yatuusiddwa eggulo akawungeezi ku Lwokusatu, ng’eno eyaniriziddwa mmeeya Mutebi ku lwa Town Council y’e Mpigi ne kkansala Musa Bukenya akiikiridde disitulikiti y’e Mpigi.
Ebimu ku byaleeteddwa mwabaddemu; ebitanda ebisukka mu 8 ebikozesebwa ku balwadde abayi ebya Intensive Care Unit, ebitanda by’omu waadi, entebe ze bajjanjabirako amannyo, ebyuma bya X-RAY, Radiology, ebyuma bya sikaani, eddagala ery’enjawulo, ebyuma ebikozesebwa ku baana abazaalibwa nga tebannatuuka , ebikozesebwa abakyala abazaala n’abamaze okuzaala, ebikozesebwa mu Theater gye balongooseza n’ebintu eby’enjawulo ebikozesebwa mu kujjanjaba.
Canon Sserunjogi ng'alambuza mmeeya Mutebi(mu kkooti) eddwaaliro
Dr. Lydia Nakitende, akulira eddwaaliro lino yagambye nti, mu kitundu kya Mpigi ku luguudo lw’e Masaka, wabeerawo obubenje bungi era buli lunaku bafuna ab’obubenje bwa bodaboda abatakka wansi wa 5, kyokka oluusi nga bawalirizibwa okubongerayo mu malwaliro amanene okufuna obujjanjabi obusinga.
Ekimu Ku bitanda bya ICU ebyaleeteddwa
Agambye nti, ekyo kimaze okunogerwa eddagala, ebyuma byonna eby’omulembe omuli n’ebirongoosa ebyetaagisa okukola ku bulwadde obw’enjawulo bifuniddwa, kati omuntu takyetaaga kusukka Mpigi nti anoonya bujjanjabi Kampala.
Dr Nakitende akulira eddwaaliro
Rev. Canon David Sserunjogi amanyiddwa nga Baruumi 8:1, nnannyini ddwaliro lino yagambye nti, ebikozesebwa ebyaleeteddwa ziri kkonteyina ssatu n’endala zikyatuuka, nga bino bigenda kufuula eddwaaliro lino ery’enjawulo era erimu ku ga maanyi mu ggwanga lyonna, erigenda okutuusa obuweereza obw’amaanyi ku bantu.
Ebimu ku byuma ebyomulembe ebyaleeteddwa
Mmeeya Mutebi yeebazizza Canon Sserunjogi olw’empeereza y’obujjanjabi gy’aleese mu kitundu, ne yeeyama okukolera awamu n’eddwaaliro okulaba nga lituusa obuweereza obulungi ku bantu.