Amawulire

Abazigu batuze abaagalana emirambo ne bagisuula mu lusuku e Kapeeka

POLIISI  e Kapeeka ekyagenda mu maaso n'okuyigga abatemu abaatuze abaagalana babiri ne babattira mu bifo eby'enjawulo.

Abazigu batuze abaagalana emirambo ne bagisuula mu lusuku e Kapeeka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI  e Kapeeka ekyagenda mu maaso n'okuyigga abatemu abaatuze abaagalana babiri ne babattira mu bifo eby'enjawulo.

Ettemu libadde ku Vespa Club e Kapeeka mu disitulikiti y'e Nakaseke, abaagalana babiri okuli Bamweyana Ssematimba ng'abadde DJ wa Club eyo ne muganzi we Slyvia Nakayenga 20 omutuuze w'e Kalagala B  LC1 e Kapeeka , bwe baakyusiddwa ensingo ne bafa.

Kigambibwa nti Ssematimba , omulambo gwe bagusanze mu kasenge mw'abadde asula ne munne Africa Aramanzaani nga gugangalamye ku mufaliso ku ssaawa nga 8:0 ogw’ekiro nga bagubisseeko n'essuuka.

Enkeera ku ssaawa ng'emu, James Seruwagi naye n'ategeeza poliisi nga bwe waliwo omulambo gw'omuwala ogwabadde gusuuliddwa mu lusuku emabega wa Club eyo kyokka nga weeguli, tewali nsiitaano.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima agambye nti baliko be bakutte okuli n'abamu ku bakozi ba Club eyo, okuyambako mu kubuuliriza.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Ttemu
Poliisi
Bazigu
Mirambo
Kusuula
Kapeeka