Amawulire

Abazigu batemyetemye omusawo ne baleka ng'ataawa!

Bibadde mu Mizigo B Cell  mu Ggombolola y'e Busimbi e Mityana , abazigu bwe balumbye omusawo Evelyne Nakasujja 24 ne bamutema omukono wakati mu kugezaako okwetaasa.

Abazigu batemyetemye omusawo ne baleka ng'ataawa!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAZIGU abatannamanyika, balumbye omusawo mu maka ge, ne bamutema omukono kumpi kwagala kugukutulako.

Bibadde mu Mizigo B Cell  mu Ggombolola y'e Busimbi e Mityana , abazigu bwe balumbye omusawo Evelyne Nakasujja 24 ne bamutema omukono wakati mu kugezaako okwetaasa.

Kigambibwa nti abazigu, baasoose kukoona ddirisa okumpi ne w’asula ne bayiwa endabirwamu nti n'oluvannyuma ne bayingira era wakati mu kubba ebintu bye omuli n'essimu nga bwe bamukanda ssente, kwe kumutema omukono.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti , Nakasujja atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi, nga bwe bagenda mu maaso n'okuyigga abazigu bano.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Bazigu
Kutemaatema
Kulumba
Musawo