ABANTU 4 abagambibwa okuba mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki ne baziguza abantu mu bitundu eby'enjawulo, bakwatiddwa. Mu kikwekweto kino , waliwo pikipiki eziwerako ezizuuliddwa , nga zirowoozebwa okuba enzibe.
Kino kiddiridde obubbi bwa pikipiki nnamba UMA era nga kigambibwa baagikutte ne Purtaz Banturaki ow'e Wankuluku mu muluka gw'e Kabowa e Rubaga mu Kampala.
Kitegeezeddwa nti yakakasizza poliisi nga bw'aliko pikipiki endala bbiri ze yabba e Nkumba okuli UFH 005 Y era nga yagiguza Muminu Lukyamuzi ne Abas Mwesezi ab'e Rakai. Endala nnamba UEQ nti yali yagibba Kigungu e Ntebe n'agiguza Mike mu Wansanso e Katwe.
Mu kikwekweto poliisi kye yakoze e Wansanso, ppiki eno baagizudde ne bakwata Derrick Ssenyange ne Ian Kaggwa.
Nga Sept 2, bambega baayolekedde e Rakai ne bakwata Lukyamuzi era n'akkiriza nga bwe yagula pikipiki UFH 005Y ku 500,000/ era ye ne munne Mwesezi ne bagitunda mu sipeeya. Nnamba plate UFH 005 Y baagizudde wamu ne pikipiki endala nnamba UDM 669Z Bajaaj Boxer.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyayigga abalala.