Bya Fatumah Nalubega
ABAZIGU abatannategeerekeka baalumbye ebyalo bibiri e Kawempe mu kiro ekyakeesa Olwokusatu ne babba n’okutemateema abantu nga muno mwe baatwalidde n’abeebyokwerinda.
Akasattiro kano kaabadde ku byalo okuli; Kyebando Nsooba zooni 1 ne Kyebando Katale zooni nga byonna biri mu munisipaali y’e Kawempe.
Asuman Mwanje nga y’atwala ebyokwerinda mu katale zooni nga naye yakubiddwa bbulooka ku mutwe.
Yategeezezza nga bwe baabadde bagezaako okutangira ababbi okutwala ebimu ku bintu by’omutuuze agamba nti babadde bakola ng’ab’ebyokwerinda nga buli kiro balawuna ekyalo okulaba bwekiyimiridde nga ne ku lunaku kyekyabaddewo.
Yategezezza nti baabadde batambula ne basanga emu ku nnyumba y’omutuuze nga nzigule ne basalawo okukyama balabe kiki ekibadde era wano we baasangidde akabinja k’abavubuka nga bataano nga bali mu nnyumba eno babbamu ebintu.
Yayongeddeko nti abavubuka bwe baabekanze kwekusalawo okuduma badduke era mu kavuvungano ako nga ab’ebyokwerinda baagala okubakwata webaatemedde William Lukwago Mpalanyi omu ku bali kukakiiko k’ebyokwerinda ekiso ku mutwe ekyamulekedde ekisago.
Mwanje yalaze okwennyamira olw’abavubuka abalumba amayumba g’abantu ne babanyagulula mu matumbi budde nga bano babeera n’ebisi omuli ebiso, n’ebyuma ebikozesebwa mu kumenya enzigi nga mu kiseera kino batuuse n’obutya baabyakwerinda.
Bassentebe b’ebyalo ebyalumbiddwa okuli; Joseph Bbosa Ssebambuulidde owa Kyebando, Nsooba ne Joseph Kimbugwe owa Katale zooni bategeezezza nga obukuumi mu kitundu buddiridde ng’ abazigu batuuka n’okuteega abantu mu budde obw’emisana.
Bemulugunyirizza enkola ya poliisi ey’okukoma ku nguudo ennene ne batayingirako munda nga bali ku bikwekweto byabwe kye bagamba nti ababbi bagweyambisa ng’ omukisa ne batigomya abantu.
Ssentebe Bbosa asabye abaserikale b’ekitundu okwongera ku budde nga bali ku bikwekweto kubanga buli lwe bannyuka amangu nga n’ababbi bababaza nga nabo batandika okutigomya abantu.
Sulaiman Walugembe Jjuuko, RCC we Kawempe yennyamidde nnyo olw’abantu abatigomya ekitundu kyokka n’awera nga bw’atagenda kuttira ku liiso muntu yenna singa anaabeera akwatiddwa mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka.
Yasabye abazadde okukomya okutiitiibya abaana kubanga kibaleetera okwonooneka ne bayiga emize emikyamu nga okubba n’okutigomya abantu.