Abantu abatannategeerekeka balumbye nnamukadde mu nnimiro ya kasooli ne bamutta omulambo ne bagukumako omuliro

By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Abantu abatannamanyika bafumbikirizza nnamukadde ne bamuttira mu nnimiro yakasooli ,oluvannyuma n'omulambo gwe ne baguteekera omuliro. 

Bino bibadde mu Tegga cell e Nabbingo mu Kyengera town Council e Wakiso, abazigu bwe bafumbikirizza Proscovia Nakiwala 66 ne bamuttira mu bukambwe. 

Bino bibaddewo ku ssaawa emu eyokumakya, abantu bwe balengedde omukka mu nnimiro, kwe kusanga omulambo gwa Nakiwala nga guteta. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Patrick Onyango, agambye nti gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago, okugwekebejja ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.