ABAZADDE ku ssomero lya Mt. St. Henry’s High School
e Lukojjo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, beekalakaasizza nga bawakanya eky’essomero lino okugoba abayizi baabwe aba S.4 nga babalanga misango
gye baddiza ewaabwe mu luwummula.
Bano bagamba nti, abayizi nga 14 aba S4 essomero lyabawandiikidde amabaluwa agabagoba ne babasindiikiriza okuva mu ssomero ng’entabwe eva mu kwenyigira mu kabaga ke baakolera mu maka g’omu ku bazadde mu luwummula.
Okusinziira ku bbaluwa egoba abayizi bano eyawandiikibwa nga Agust 3, 2026 era eriko n'omukono gw’omukulu w’essomero, Teopista Nakalembe, abayizi bavunaanibwa
okweyisa mu ngeri ey’ekigwenyufu nga bakozesa ebiragalalagala,
okusaasaanya obutambi obw’obuseegu n’okutegeka obubaga nga byonna bimenya mateeka ga ssomero.
“Okusinziira ku kunoonyereza ku nneeyisa yammwe mu lumummula, kikakasiddwa nti, mweyisa mu nneeyisa evumaganya ekifaananyi ky’essomero n’ennono zaalyo.
Noolwekyo, muweereddwa ekibonerezo kya kugobebwa ku ssomero mbagirawo nga kya kumala ekiseera ekitali kigere. Wabula mujja kukkirizibwa okujja okukola ebigezo
byammwe ebya UNEB wakati mu bukwakkulizo obw’enjawulo,” ebbaluwa bw’esoma.
Era bawakanya n’eky'okusasula ebisale by’essomero ebya ttaamu abayizi gye batagenda kubeera ku ssomero nga bagamba nti, kino nakyo si kituufu. Ku kya buli muyizi buli lunaku lw’anaakolanga ebibuuzo okugendanga ku ssomero n’omuserikale, abazadde bagamba nti, kikyamu kuba bano si bazzi ba misango okuleka essomero okwagala okukosa obwongo bw’abaana baabwe ate mu kadde akazibu nga ak'okweteekerateekera ebibuuzo eby’akamalirizo ne mu kiseera we banaabikolera.
Abazadde bagamba nti, baabalagira okuwandiika ebbaluwa nga basaba essomero libasalire ku kibonerezo abamu ku bo ne kino ne bakiwakanya nga bagamba nti, abaana baabwe tebazzanga ku misango gino.
Bwe twagenze ku ssomero lyogere ku nsonga eno, omumyuka lyogere ku nsonga eno, omumyuka w’omukulu w’essomero, Alfred Kalamya yalagidde omusasi waffe
afulume essomero alinde okusalawo okunaava mu bboodi y'essomero