Abayizi b'essomero 26 batwaliddwa mu ddwaliro ng'embuto zibali bubi n'okusesema, oluvannyuma lw'okulya enswa, munnaabwe z’abatwalidde ku ssomero.
Enjega ebadde ku ssomero lya Buwanda P/S ku kyalo Buwanda mu muluka gw'e Bugomba mu ggombolola y'e Nawampiti e Luuka, abayizi bwe baweereddwa ebitanda ku ddwaliro lya Kiyunga Health Centre IV ng'embuto zibaluma.
Kigambibwa nti muyizi munnaabwe owa P6, Peace Namukose ye yagenze n'enswa nnyina ze yamusibiridde era buli eyaziriddeko olubuto ne lumutabukira.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Samson Lubega, agambye nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso okuzuula ekizibu kino kwe kyavudde.