Abawanguzi ba Bride and Groom basambira nnyuma nga jjanzi

1st November 2021

ABAWANGUZI b’omwoleso gwa Bride and Groom bagenze okuva ku kitebe kya kkampuni ya Vision Group nga bacacanca oluvannyuma lw'okusitukira mu birabo eby'enjawulo.

Abawanguzi ba Bride and Groom basambira nnyuma nga jjanzi
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire

Abawanguzi bana (4) abajjumbira ennyo omwoleso guno be babuuse masejjere n’ebirabo eby’enjawulo omubadde empeta, gawuni, eby’okwewunda eby’obwereere n’ekifo aw’okuwummulira ku bwereere.

Jackie ne David abaafunye empeta

Jackie ne David abaafunye empeta

Abawanguzi abaanyweddemu bannaabwe akendo kwabaddeko, James Kintu ne Olivia Okiror abaakutte ekisooka, mu kyokubiri mwabaddemu David Tebandeke ne Jackie Nalumansi, mu kifo ekyokusatu mwabaddemu Joel Tebandeke ne Phionah Uzamukunda ate mu Kyokuna ne mubaamu Dezideranta ne Paul.

Olivia ne James abaawangudde gawuni n'okubateekerateekera omukolo

Olivia ne James abaawangudde gawuni n'okubateekerateekera omukolo

Omukolo guno gwayindidde ku kitebe kya Vision Group ekikulu mu Industrial Area, Kampala era nga abaaguddukunyizza kwabaddeko akulira ebivvulu mu kkampuni eno (Events manager), Fiona Tamale  n’omulabirizi w’abavujjirizi b’ensimbi (Sponsorship supervisor), Conrad Bukonyezi.

Paul ne munne baawangudde eby'okwewunda

Paul ne munne baawangudde eby'okwewunda

Abaataddemu ensimbi mu mukolo kwabaddeko aba Bella wine, Signature Jewellery, Bridal World, SR Afro Kuku, Stress free Serene  events, n’aba Ashilyz and beats by Deryk.

Fiona Tamale, akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group

Fiona Tamale, akulira ebivvulu mu kkampuni ya Vision Group

Bukonyezi ng'aliko by'annyonnyola

Bukonyezi ng'aliko by'annyonnyola

Owa Bella's Wine naye yabaddeyo

Owa Bella's Wine naye yabaddeyo

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.