WABADDEWO okulwanagana okw’amaanyi n'obunyazi e Iganga wakati w'abawagizi b'abeesimbyewo ababiri eggulo.
Abantu bana okuli n'omumyuka w'omubaka wa gavumenti mu kitundu ekyo, Ronald Mwase 35, Sharif Boogere 26 ddereeva nga mutuuze w'e Nabigando Prisons , Zarid Basiisi, ne Ronald Mumbya, bakwatiddwa poliisi e Iganga.
Mmotoka emu ku ezo ezaabaddeyo.
Mu ngeri y'emu era emmotoka 3 nazo ziboyeddwa poliisi nga kuno kuliko nnamba Drone UBF 800K , Noah nnamba UAY 559 F , ne Canta UAX 468J .
Akabbinkano k'omubaka omukyala, kali wakati w'omubaka w'ekitundu ekyo Hon. Kawuma Saudah Alibaawo ne munne amuvuganya Mariam Seefa abaakubye olukung’aana lwabwe olusembayo eggulo, abamu ku bagambibwa okuba abawagizi baabwe ne bakuba n'okunyaga abantu nga babayisaamu eggaali.
Akavuyo kaabadde mu kibuga Iganga ku luguudo lwa Nkuubi Road . Abamu ku baanyagiddwa , kuliko Joel Ngobi 28 omusuubuzi nga bamunyaze 70,000/ emizindaalo gy'emmotoka ye n'ebintu ebirala, omulala Ali Kulabula 27 naye bamubbye essimu ne ssente ze, Hamuza Muganza naye baamubbye wamu ne Arafaati Ngoobi owa bodaboda gwe baanyazeeko ssente n'essimu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, agambye nti bano bonna , bamaze okuggyibwako sitatimenti era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso. Evumiridde ebikolwa bino eby'efujjo n'obunyazi.