Abawagizi ba Bobi abali ku gw’okutega bbomu bagobye bannamateeka ba NUP

ABAWAGIZI ba Bobi Wine abavunaanibwa mu kkooti y’amagye bagobye bannamateeka ba NUP ababadde babawolereza.

Abawagizi ba Bobi mu kaduukulu ka kkooti y’amagye e Makindye gye bavunaanibwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAWAGIZI ba Bobi Wine abavunaanibwa mu kkooti y’amagye bagobye bannamateeka ba NUP ababadde babawolereza.
Mu bbaluwa eyateereddwaako emikono gy’abasibe 14 ku 32 abavunaanibwa, baawandiikidde ssentebe wa kkooti eno, Brig. Gen.  Freeman Robert Mugabe n’abakulu abatuula mu kkooti nga babategeeza nga bwe bakyusizza bannamateeka baabwe nga kati baakukozesa looya w’amagye aweebwayo gavumenti okuwolereza abalina emisango mu kkooti eyo.
Bannamateeka George Musisi ne Benjamin Katana be babadde babawolereza. Mu bbaluwa baategeezezza nti baasazeewo munnamagye Capt. Simon Nsubuga y’aba abawolereza. Abaataddeko emikono kuliko; Rashid Ssegujja, David Mafabi, Robert Christopher Rugumayo, Abdul Matovu, Mesach Kiwanuka,
Paul Muwanguzi, Simon Kijambu, Ibrahim Wandera, Stanley Lwanga, Steven Musaakaru, Ronald Kijjambu, Asubat Nagwere, Livingstone Katushabe ne Siraji Osobali.
Bannyonnyodde kkooti nti kino bakikoze si lwakuba Musisi ne Katana tebasobola kubawolereza naye lwakuba balina eby’okukola bingi nga tebafuna budde kubawolereza bulungi.
Bano be bamu ku basibe abavunaanibwa okutega bu bbomu ekika kya guluneedi mu
 itundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Kigambibwa nti abawawaabirwa wakati wa November 2020 ne May 12, 2021, mu bitundu bya Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Nateete ne Kampala Central, baasangibwa ne bu bbomu obw’omu ngalo 13. Musisi
yategeezezza nti baakusigala nga bawolereza abasibe abatannabaggyako buyinza. Omusango guddamu nga October 7, 2024.