OMUJULIZI abuulidde kkooti engeri abaawamba n’okutta Suzan Magara gye baakozesa layini z’essimu 17 mu nnaku 25 bwe baamala okumutta ne bazisuula.
Enock Kinene okuva mu Cyber Crimes Unit eya poliisi yabadde mu kkooti enkulu mu Kampala okuwulira obujulizi mu musango n’okutta omuwala Suzan Magara n’agamba nti yazuula nti layini 17 ze zaakozesebwa abatemu mu nnaku 25 ne bazigyako nga bamaze okumutta.
Kinene yabadde asoyebwa ebibuuzo okuva mu bannamateeka b’abasibe nga bakulembeddwa Richrd Kombuga, Benjamin Wanda ne Zaina Nampeera nagamba nti abaawamba Suzan Magara layini ze bakozesa zaatandika nga February 3, 2018 ne bazigyako nga February 27, 2018.
Yagambye nti mu kwekenneenya engeri gye baali bawuliziganyamu, layini ezitaali mpandiise ku mikutu gy’empuliziganya ze zaakozesebwa kyokka okuva emabega mu December 2017 baali bakozesa layini ezaali mu mannya gaabwe nga bawuliziganya n’eyali kayungirizi waabwe bonna, Hakim Lugoloobi.
Nga bamaze okufuna ezitaali mpandiise bano baasigala bawuliziganya ne Lugolobi ku layini ye ekyayongera okukakasa nti layini 17 zaasazibwa kubuzaabuza n’okukolerako misoni y’okuwamba n’okutta Suzan Magara. Oluvannyuma lw’obutemu, Kinene yagambye nti abatemu baggyako nnamba zonna ze baali bakozesa olwo ne bazzaako layini ze baali baafuna mu makubo amatuufu nga mpandiise mu mannya gaabwe ne basigala nga bawuliziganya ne Lugolobi. Wano bambega we baasinziira mu kunoonyereza mwe baakwatira abawawaabirwa.
Obujulizi bwa Kinene bulaga nti Lugolobi yali mu kifo ky’ekimu ne nnamba etamanyiddwa eyakubiranga ne taata wa Suzan bwe yali emulagirira e Namasuba ewaali wateereddwa ebbaasa omwali engalo n’akatambi okwali Suzan Magara ng’alaajana.
Abawawabirwa kuliko Yusuf Lubega, Hussein Wasswa, Muzamir Ssali, Hassan Kato Miiro, Abas Buwembo, Abubaker Kyewolwa, Mahad Kisaliita, Ismael Buckeye ne Hajjara Nakandi abawerennemba n’okuwamba, okusaba ssente ssaako okutta Suzan Magara.
Alipoota ya Kanene yaweereddwayo mu kkooti ng’ekizibiti ky’oludda oluwaabi era teyawakanyiziddwa bannamateeka b’abasibe. Obujulizi mu kkooti bulaga nti nga February 17, 2018 ennamba ya Lubega yali mu bitundu by’e Matugga mu kiseera nga waliwo nnamba eyali temanyiddwa eyali eyogerezeganya ne taata wa Magara nga bamulagirira waalina okuteeka ssenteb obukadde 700.
Kinene nga ye mujulizi ow’e 18 ow’oludda oluwaabi yakkaatirizza nti wakati wa February 7 ne February 24 2018, John Magara (taata), Immaculate Magara (maama) ne Flora Magara(ssenga) nga be bazadde ba Suzan Magara baafun amasimu ag’enjawulo nga babategeeza nga bwe balina muwala waabwe. Nnamba ezaali zibakubira zaali teziwandiikiddwa ku mikutu gyampuliziganya okuggyako eya Yakoub Byensi akyanoonyezebwa.
Obujulizi bwa Kinene buggatiddwa ku bw’abalala okuli n’obw’omuserikale wa poliisi, Frank Nyakairu omukungu mu kulumika amasimu n’empuliziganya. Ezimu ku nnamba ezayogera nga ne Byensi zaawandiisibibwa mu mannya aga Mahad Kisaliita, Hakim Lugolobi, Yakoub Byensi,Yusuf Lubega, Ssali Muzamir, Hassan Kato, Isma Bukenya ne Hussein Wasswa, nga beekubira ssimu emirundi egiwerako nga basinziira e Konge, Makindye, Kabowa, Lubiri-Kabakanjagala n’ebitundu ebyetoolodde Kampala. Obutambi obwaleetebwa mu kkooti bwalaga nti abaawamba Magara baasooka kukubira nnyina Immaculate Magara nga February 8, 2018 amangu ddala nga bawambye Suzan.
Suzan Magara 28, eyali omubazi w’ebitabo ku Bwendero Farm e Mengo yawambibwa bwe yali atuuka mu makaage e Lungujja nga February 7,2018 oluvanyuma omulambo gwe ne gusuulibwa e Mutungo Kitiko nga February 24,2018. Abatemu basooka kufuna obukadde 700 wadde nga baali basabye ezisoba mu kawumbi okuva ku bazadde b’omugenzi. Mu kkooti era baaleeta obujulizi bw’akatambi akaaliko Suzan Magara ng’atemeddwako engalo ng’alajaanira abazadde be okuweereza ssente abaali bamuwambye basobole okumuta