Abataka b'ebika balambudde amasiro

ABATAKA balambudde omulimu ogukolebwa mu masiro e Kasubi ne batendereza omulimu ogukoleddwa bazzukkulu be baasiiga mu kifo kino okukizza ku mutendera gw’ensi yonna

Abataka nga bali e Kasubi
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

ABATAKA balambudde omulimu ogukolebwa mu masiro e Kasubi ne batendereza omulimu ogukoleddwa bazzukkulu be baasiiga mu kifo kino okukizza ku mutendera gw’ensi yonna

Bano kuliko Omutaka Sheba Kakande Kasujja akulira ekika ky’engeye n’Omutaka Keeya Ttendo Namuyimba Muteesasira ng’ono y’akulira ekika ky’engo baagenze mu masiro ku Lwokuna September 28, 2023 nga baayaniriziddwa Katikkiro w’amasiro David Nkalubo.Ab’engeye bebali ku mulimu gw’okusereka enju Muzibu-Azaala-Mpanga nga bayita mu musiige Wabulakayole ate ab’engo be bali ku mulimu gw’okuwunda enju eno okuyita mu musiige ayitibwa Ssegirinya.

Amasiro

Amasiro

Omutaka Kasujja yategezezza ng’okukyala kwaabwe bwekwagendereddwamu okwongera okuzzaamu amaanyi bazzukkulu baabwe abazizzaawo amasiro gano ekyatuusizza n’ekitongole ky’ensi yonna ekivunanyizibwa ku by’obuwangwa okuggya amasiro gano ku lukalala lw’ebifo ebiri mu katyabaga.“Omulimu guno weguli gusanyusa era guweesa ekitiibwa.

Leero twagadde okulaga bazzukkulu baffe abali ku mulimu guno nti tuli wamu nabo,omulimu gwebakola tugusiima. Okujja okubalabako kukoze ng’akabonero akalaga nti tetwasaddakayo basaddake wabula tuli wamu nabo mu kugutuukiriza,” Omutaka Kasujja bweyagambye.Kasujja yagambye nti babadde batutte ebbanga nga tebalambula ku bazzukkulu baabwe be basiiga ku mulimu guno era n’alaga essanyu bebasanze bawereeza bulungi bwatyo neyeebaza Kabaka ne gavumenti ye okusobozesa abasiige bano okutuukiriza obulungi omulimu gwaabwe.

Ye Omutaka Muteesasira asinzidde wano n’ategeeza nti alabye wadde omulimu gusanyusa wabula bingi okuli essuubi n’ebyokuwunda munda okuli emikeeka,embugo n’ebirala bikyetaagisa n’asaba omuzzukkulu yenna alina kyasobola okuleeta okumaliriza omulimu guno.“Omulimu guno ffenna  gutukwatako ng’ebika n’Obwakabaka bwaffe okutwalira awamu n’olwekyo buli omu alina okwebuuza kiki kyakoledde Obwakabaka okugenda mu maaso okuggyako okwenyumiriza mweebyo ebyakolebwa edda,”Muteesasira bweyakunze abazzukkulu.

Omusiige ayitibwa Nsigo ng’erinnya lye ye Esau Makumbi yasomoozezza abakulu b’ebika ebirina abasiige mu bifo eby’ennono okukomya omuzze gw’okubasulirira nga bali mu buwereeza bwebateekamu wabula bafengayo okulaba ng’embeera mwebawerereza nga nnungi wadde oluvanyuma babeera baakufuna ensako okuva mu Bwakabaka.“Bajjajja abakulu b’ebika musuliridde nnyo obuvunanyizibwa bwamwe gyetuli ng’abasiige. Kituufu eno gyemwatusiiga tufunayo ensako naye namwe musaanye okufaayo ku mbeera mwetubeera n’okukolera. Nze wano bampa ensako buli mwezi naye ebulamu kuba n’ekisinga obuzibu,teriiko na kyamisana!

 

,” Nsigo nga ye mugazzi era omugguzi w’emiryango gy’omunda mu masiro okuli Ogwa Bujjabukula n’ogwa Muzibu-Azaala-Mpanga yasabye Abataka bano baakyadde e Kasubi okuddayo okutegeeza abakulira ebika,okwekolangamu omulimu okufuna ensimbi n’ebikozesebwa biyambe ku basiige okutuukiriza obulungi obuvunanyizibwa bwaabwe.Katikkiro w’amasiro gano, David Nkalubo yabulidde Abataka nti obuweereza abasiige bwebakola babukola ku lwaabwe ng’Abataka n’ebika byaabwe n’abeebaza olw’okujja okubalambulako n’okubazzamu amaanyi kuba ensobi yonna gyebakola,babeera bagikoze ku lw’ebika byaabwe.Nkalubo ye nga wa musu yategezezza nga bwebali mu kuteekateeka ebyo byonna ebigenda okuteekebwa mu ddiiro lya Muzibu-Azaala-Mpanga ng’amafumu gonna gaweedde okuweesebwa,ebibbo,omweso n’ebiwunde ebirala. Abataka baakwasizza abasiige baabwe byebabetikidde era nebasuubiza okugenda okubasakira ebirala,lwebalikomawo babibakwase okuli amakanzu