Amawulire

Abasoga balaze bye baagala Museveni abakolere mu kisanja ekijja

WIIKI eno Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ali Busoga okuyigga akalulu akanaamuzza mu ntebe.

Abavubi ku mwalo gw’e Bukungu nga balaga sayizi z’ebyennyanja ebikkirizibwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

WIIKI eno Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ali Busoga okuyigga akalulu akanaamuzza mu ntebe.
Busoga kye kitundu Museveni mw’azze abeera n’obuwagizi obw’amaanyi, wabula ebisanja bwe bigenze byetooloola, obuganzi bwagenda busereba era mu kulonda kwa 2021, obululu bwali butono kuba disitulikiti ezisinga, Robert Kyagulanyi Ssentamu owa
NUP yakubira waggulu.
Amangu ddala ng’okulonda kuwedde, Museveni yasindika ttiimu eyanoonyereze lwaki byali bwe bityo, nga ku bino kwaliko ebbeeyi y’ebikajjo okugwa, okuva ku 250,000/- buli ttani n’edda ku 50,000/-, ekyanyiiza Abasoga ne  balowooza nti, mulimu omukono gwa Gavumenti okubakuumira mu bwavu.
Kuno gattako n’ebbula ly’emirimu mu bavubuka, obwavu obuyitiridde ng’ebirime naddala kasooli bigulwa ddondolo, era bw’akomyewo okusaba ekisanja, Abasoga era bakyalina ebibanyiga, era okusinziira ku ssentebe wa NRM e Kamuli, Samuel Bamwole,
Busoga ekyalina okusoomoozebwa.
BUSOGA EBANJA ENGUUZO ZA KOOLAASI 4
Ssentebe wa LC5 e Iganga, Ezra Gabula, Busoga agamba nti, baagala babakolere enguudo okuli olw’e Iganga okuyitira ku kitebe kya disitulikiti y’e Luuka, e Bulopa mu disitulikiti y’e Kamuli okutuuka ku Lubiri lwa Kyabazinga e Budhumbula mu nkingizi z’ekibuga ky’e Kamuli, ze kiromita ezisoba mu 74.
Okusinziira ku amyuka Katikkiro wa Uganda asooka, era nga ye Minisita w’ensonga z’omukagogwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga, Busoga ekyabanja koolaasi ku lw’e Jinja/Kimaka-Budondo- Mbulamuti–Kamuli, ze kiromita ezisoba mu 80.
Yagambye nti, oluguudo luno lwa nkizo kuba lujja kutumbula eby’obulambuzi, kuba luyita mu bifo eby’enkizo naddala ebyali ebiyiriro by’e Bujagaali, gattako n’eby’e Busoowooko mu ggombolola y’e Budondo mu disitulikiti y’e Jinja, abalambuzi gye beeyiwa buli lunaku.
Oluguudo olw’e Kaliro- Bukoova mu Luuka okutuuka e Kamuli, nalwo lutambuza abantu n’ebyamaguzi bingi (kiromita 48).Busoga era ebanja Industrial Park, okuzzaawo ekitiibwa kya Jinja City kuba edda kye kyali ekibuga ekyali kisinga okubaamu amakolero amangi mu Uganda.
EBBEEYI Y’EBIKAJJO EKYALI WANSI
Ebbeeyi y’ebikajjo okugwa kukyali kusoomooza, kuba okuva ttani lwe yagwa okuva ku 250,000/- wakati wa 2018-2019, n’edda ku 50,000/-, kati egula 125,000/- era wadde amakolero ga ssukaali gaayala, ebbeeyi ekyagaanyi okulinnya.
Ssentebe w’ekibiiba kya Greater Busoga Sugarcane Growers Union (GBSGU), Godfrey Biriwali, agamba nti, kuba kunyigirizaAbasoga nti, Abayindi amagoba ge bafuna ku (bagash) ekikuta, ssukaaliggulu n’amasannyalaze, tegaddizibwa balimi.
EBBULA LY’EMIRIMU MU BAVUBUKA
Ssentebe w’abavubuka e Buyende, Rogers Sande Muwonge, agamba nti, ebbula ly’emirimu kizibu ddala, ng’ate bw’egirangibwa, abagigaba batunda mitunde, wakati
w’obukadde 3-8.
Ebbula ly’emirimu lye lireetedde abavubuka okwesogga ekibiina kya NUP nga basuubira nti, Pulezidenti omupya asuubiza Uganda empya, y’agenda okukyusa obulamu bwabwe.
ABASOGA BAKAABA AMAGYE AGABAGOBA KU NNYANJA
Wadde Gavumenti yamalirizza okuzimba ebidyeri 2 ku mwalo gw’e Bukungu e Buyende, ebigenda okugatta Busoga u Lango ne Teso, abavubi bakukkulumira amagye okubagoba ku nnyanja.
Mu disitulikiti eziriraanye ennyanja Victoria ne Kyoga, abantu bakaaba amagye agabagoba ku nnyanja ne gookya obutimba n’amaato, ekyavaako enkumi n’enkumi z’abavubi okufiirwa emirimu, obwavu ne bweyongera.
Ssentebe wa LC5 e Buyende, Michael Kanaku, agamba nti, akisinga okubanyiga kwe kwokya obutimba n’amaato, wakati mu kubalagira bagule obutimba n’amaato amanene ate nga bya bbeeyi.
Abavubi era baagala Gavumenti esseewo omutemwa gwa ssente bave ku nvuba y’oku nnyanja basime ebidiba balundiremu ebyennyanja.
Pulezidenti Yoweri Museveni ne mukyala we, Janet Museveni nga batuuka ku Kyabazinga Grounds mu disitulikiti y’e Bugweri. Kozesa App ya New Vision olabe vidiyo.
Mu disitulikiti y’e Bugweri ne Buyende, Abasoga mu magombolola Makuutu ne  Buyanja abawera 50,000 bali ku bwerinde bwa kusengulwa oluvannyuma lwa Gavumenti okuzuulayo ebyobugagga bw’omu ttaka.
E Buyende, ebyalo 12 mu ggombolola y’e Buyanja ebyetoolodde olusozi lw’e
Kasaato byalaalikibwa okusengulwa oluvannyuma lwa Gavumenti okuluzuulamu ekirungo kya Uranium ekivaamu amaanyi ga nyukiriya, era ng’etegeka kuzimbayo Nuclear Plant ekola amasannyalaze.

BUSOGA TERINA KIRIME KYA NKALAKKALIRA EKIVAAMU SSENTE
Rogers Dhizaala, omutuuze w’e Butende mu disitulikiti y’e Kamuli, agamba nti, obuzibu Busoga bw’erina kwe kubulwa ekirime ekivaamu ssente ezeegasa. Abasinga balima kkooko, Hash ovakkedo, kasooli, wootameroni, enva endiirwa n’ebikajjo.
EBYENJIGIRIZA
Ekimu ku bisinze okunyiga ebyenjigiriza y’enkola ya UPE ng’amasomero agali ku nkola
eno tegalina bikozesebwa ate ag’obwannannyini ga buseere.
E NAMUTUMBA BAAGALA KIZIMBE KYA KKOOTI
Herbert Batale, omutuuze w’e Kasozi mu disitulikiti y’e Namutumba, agamba nti, embeera y’ekizimbe kya Kkooti ya disitulikiti y’ennyamiza, n’asaba Gavumenti ezimbe
Kkooti egya mu kitiibwa kya NRM.

Tags: