Bya Edward Luyimbaazi
GAVUMENTI eragidde amasomero okukeberanga abayizi baabwe buli luvannyuma lwa myezi 4 okusobola okukendeeza ku bulwadde bw’emitwe mu bavubuka.
Bino byogeddwa Minisita wa matendekero aga waggulu John Cryzestom Muyingo bw’abadde akulembeddemu amatikkira g’omulundi agookusatu ku ettendekero ly’abasawo erya School of Psychiatric Clinical Officers, Butabika.
Minisita John C. Muyingo Ng'akwasa Satifikeeti Angel Nanteza Eyayiiya Oluyimba Lw'ettendekero Ly'a Basawo Erya School Of Psychiatric Clinical Officers,butabika.
Okwogera bino asinzidde ku byogeddwa akulira eddwaaliro ly’abalwadde b’emitwe e Butabika Dr. Juliet Nakku n’akulira ettendekero lino Mathias Nampogo abagambye nti obulwadde bw’emitwe bweyongedde mu ggwanga era waliwo noomu ku bayizi ku ttendekero lino eyafudde mu ngeri etategeerekese nga kigambibwa yesse.
Alagidde abazadde okukwatagana n’amatendekero nga buli luvannyuma lwa myezi 4 bakebera abaana baabwe emitwe, kiyambeko okukendeeza ku bavubuka abalwala emitwe.
Minisita John C. Muyingo Ne Dr.safina Musene Ng'ali N'abayizi Abatikkiddwa Ku Ttendekero Ly'a Basawo E Butabika.
Nampogo, akulira ettendekero lino agambye nti omuwendo gw’abalwadde b’emitwe gujja kweyongera nnyo wetunaatukira mu mwaka gwa 2030 noolwekyo beetaaga okwanguwa okufulumya abasomesa bananganga abantu abo oba abanaagenda mu byalo okubudaabuda abantu baleme kutabuka mutwe..
Abamu Ku Basawo Abatikkiddwa Ku Ttendekero Ly'a Basawo Erya School Of Psychiatric Clinical Officers,butabika Nga Bakuba Ebirayiro.
Agambye nti mu ssomero lino beetaaga okubazimbira ebizimbe ebirala kubanga omuwendo gw’abayizi gweyongera nga balina ekibiina kimu mwe basomeseza abaana nga bwekityo beetaagaayo ebizimbe ebirala.
Tebalina kifo we basomera kompyuta wamu ne webatereka ebitabo nga bwekityo singa bafunayo ekifo webayinza okuteeka ebintu ebyo byonna.