Amawulire

Abasangiddwa nga bazina ekimansulo e Kasangati poliisi ebaggalidde!

POLIISI e Kasangati ekwataganye n’ámagye n'ekola ekikwekweto mw'ekwatidde abantu 49 okubadde nábawala abazina ekimansulo

Abasangiddwa nga bazina ekimansulo e Kasangati poliisi ebaggalidde!
By: Eria Luyimbazi, Journalist @New Vision

POLIISI e Kasangati ekwataganye n’ámagye n'ekola ekikwekweto mw'ekwatidde abantu 49 okubadde nábawala abazina ekimansulo mu kaweefube gwériko ow'okufufugazza abamenyi bámateeka.

Kino kyaddiridde poliisi y'e Kasangati okufuna okwemulugnya okuva mu batuuze nga obumenyi bw'amateeka bwe bususse mu nnaku ezimu mu wiiki saako námabaala agasusse okuleekaanya emizindaalo  ne babulwako obwékusizo.

Abavubuka Abaakwatiddwa Mu Kikwekweto.

Abavubuka Abaakwatiddwa Mu Kikwekweto.

Amyuka Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire yagambye nti abamu ku batuuze mu bitundu ebitwalibwa poliisi y'e Kasangati bavuddeyo né beekubira enduulu nga obumenyi bw'amateeka bwe bususse mu bitundu byabwe era ne babimenya ne basaba poliisi ekole ekikwekweto okubumalawo ssaako okukoma ku mabaala agasusse okubaleekaanyiza emizindaalo.

Yagambye nti abatuze era babuulidde poliisi ebitundu ebisinga okubeeramu abamenyi bámateeka okuli Kasambya Chappa, ku kabuki ké Kiwenda., akabuga ka Sitaabale  né Busukuma era ne babuulira poliisi nti obubbi nókunyaga abantu bisinga kubeerawo ku naku okuli Olwokusatu , Olwokutaano nÓlwomukaaga nga kunau zino nadala amabaala gabeera ne kaliyoki saako ekimansulo ebisombola abantu saako nábamenyi bámateeka.

Abamu Ku Bawala Abaakwatiddwa.

Abamu Ku Bawala Abaakwatiddwa.

Yategezezza nti embeera eno yaviriddeko poliisi okusitukiramu nékola ekikwekweto ekyabaddewo nga July 27, 2024 nga kyasookedde Busukuma  ne Masooli abaserikale nga bawerekerwako ab'amagye  bwe gazinzeeko amabaala gye babadde bategekedde  emimansulo  e Kasambya Chappa nadala mu bbaala ya Kasubi abatuuze gye basonzeeko nti y'esinga okubudamya abamenyi bámateeka nga wano bakutteyo 21 abatwalidwa ku poliisi y'e Magere.

Luke Ng'annyonnyola.

Luke Ng'annyonnyola.

Yagambye nti era ekikwekweto kyeyongeddeyo e Kiwenda mu katundu akamanyiddwa nga Ghetto ne Sitabaale gye bakwatidde abavubuka 20 nga bano batwaliddwa ne baggalirwa ku poliisi y'e Busukuma. Yagambye nti era mu kitundu kya Sitabaale abaserikale bazinzeeko ebbaala ya Wololo  emanyiddwa okutegeka ekimansulo nga abaserikale bwe batuuseewo basanze waliwo abawala abazina obwereere ne babakwata ne bavunaanibwa  ku musango oguli ku ffayiro nnamba SD 03/28/7/2024.

Abawala abaakwatiddwa nga bazina ekimansulo kuliko Fatuma Naggayi, Prossy Nakyanzi,  Betty Nvukyege, Faith Kyasimire, Juliet Nakato, Scovia Katwesigye , Florence Bisirikirwa, ne Brenda Nakiddu nga bano batwaliddwa ku poliisi e Kasangati  awali akaddukulu omukuumirwa abakazi.
 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Kasangati