Abanyarwanda abali mu Uganda balonze pulezidenti

ABANYARWANDA abasoba mu 20,000 abali mu Uganda beeyiye ku kitebe kyabwe e Kitante okulonda pulezidenti mu kalulu ka bonna akatandise leero ku Mmande e Rwanda.

Abanyarwanda abaabadde basimbye ennyiriri e Kitante okukuba akalulu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANYARWANDA abasoba mu 20,000 abali mu Uganda beeyiye ku kitebe kyabwe e Kitante okulonda pulezidenti mu kalulu ka bonna akatandise leero ku Mmande e Rwanda.
Ekitebe kya Rwanda mu Uganda kyakoledde bannansi baakyo ababeera mu Uganda entegeka nabo okusobola okwetaba mu kulonda nga tebazzeeyo Rwanda. Abeesimbyewo bali basatu nga kuliko: Pulezidenti Paul Kagame ow’ekibiina kya Rwanda Patriatic Front (RPF) n’abalala babiri okuli akulira oludda oluvuganya Frank Habineza mu kibiina kya Democratic Green Party (DGP) ne Philippe Mpayimana atalina kibiina.
Wiiki ewedde omubaka wa Rwandamu Uganda yalangirira nti bonna abalina ebisaanyizo okwetaba mu kulonda ngababeera mu Uganda , babategekedde okulonda eggulo ku Ssande ate mu ggwanga lya Rwanda okulonda kwa leero ku Mmande.
Wano mu Uganda , enyiriri zaakwatiridde okutandikira ku luguudo lw’essomero lya Kitante P/S okuyingira mu kitebe kya Rwanda bwe baliraanaganye n’essomero.
Obwedda abalonda bababuuza kkaadi oba passport. Abamu ku balonzi okwabadde
Betty Mbabazi, ne Leticia Kaiteshi baategeezezza nti babadde tebasobola butagenda kulonda kubanga embeera y’emirembe eriwo mu mawanga abiri ebadde ebasobozesa okulonda.
Omusumba Amos Hakizimana yagambye nti okulonda kwatandise ku ssaawa 1.00 ey’oku makya nga kukulembeddwa omubaka waabwe mu Uganda era kwakomekkerezeddwa ku ssaawa 11:00 ez’olweggulo nga bagenda kulindirira ebinaava mu kulonda okwa bonna e Rwanda okulangirira omuwanguzi.
HANNINGTON NKALUBO BENJAMIN SSEMWANGA JOSEPH MUTEBI Abanyarwanda abali mu Uganda balonze pulezidenti Okulonda obukiiko kutabudde bakansala ku City Hall Hajji Bulwadda ayongedde ab’omu Lubigi ettaka Hajji Bulwadda (ku kkono) nga bamwebaza okubawa ettaka. Aba Kampala International University batikkiddwa Otafire n’alumba abali b’enguzi Abamu ku bayizi abaatikkidwa. Mu katono ye Otafire.