Amawulire

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente n'ebisolo e Kajjansi

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente n'ebisolo ebirala, bakwatiddwa poliisi e Kajjansi.

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente n'ebisolo e Kajjansi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente n'ebisolo ebirala, bakwatiddwa poliisi e Kajjansi.

Abakwatiddwa, kuliko Muzafaru Kiberu 25 ne Jimmy Katto 48 nga mutuuze w'e Kitende. Waliwo ente enzirigavu egambibwa okuba enzibe gye basanze munda mu geeti mu Canana Estate mu Kitende B cell e Kajjansi.

Mu ngeri y'emu era, waliwo amatundubaali agabadde gasaabaanye omusaayi n'obusa bw'ente , agazuuliddwa okuva mu kifo ekyo ne gatwalibwa okuyambako mu kunoonyereza.

Okubakwata, kidiridde okubaako aloopera poliisi nga bwe wabaddewo abatambuliza ente mu mmotoka ya Ipsum ne bagiyingiza mu Canan Estate , gye bazibaagira nti olwo ennyama ne bagissa ku boda boda okugitambuza.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti bayambiddwako  ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, okubanyweza

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: