Rebecca Kadaga akubye emmeeza olw'okumusimbako Anita Among eyaakajja mu NRM

ENKALU zeeyongedde okunoonya  obukongovvule ku bavuganya ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM mu ggwanga owookubiri [omukazi] ku lukiiko olufuzi olwa CEC, Rebecca Kadaga bwatusse n’okutegeeza omukulembeze w’e ggwanga nti ekikolwa ky’okumusimbako Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among kubeera kwagala ku munyigiriza.

Dr Baryomunsi ng'ayogera ne Rebecca Kadaga
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

ENKALU zeeyongedde okunoonya  obukongovvule ku bavuganya ku kifo ky’omumyuka wa ssentebe wa NRM mu ggwanga owookubiri [omukazi] ku lukiiko olufuzi olwa CEC, Rebecca Kadaga bwatusse n’okutegeeza omukulembeze w’e ggwanga nti ekikolwa ky’okumusimbako Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among kubeera kwagala ku munyigiriza.

            “Ssebo ssentebe waffe nze obulamu bwange bwonna mbumaze mu kibiina kya NRM, wabula siri mussanyufu olw’engeri gye nzize nyigirizibwamu okuli n’oku nziggya ku kifo kya Sipiika wa palamenti gye buvuddeko ne nswazibwa mu nsi yonna, kyokka ate laba ne bwekitusse ku kifo kya CEC kye mbaddeko ate muleese Among” Kadaga bweyategeezezza.

Bannakibiina kya NRM nga bali mu lukiiko lwa CEC

Bannakibiina kya NRM nga bali mu lukiiko lwa CEC

            Bino Kadaga yabyogeredde mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe ku Lwomukaaga mu lukungaana lw’e kibiina olwatudde nga lukubirizibwa ssentebe waabwe Yoweri Kaguta Museveni mwe baabadde bakakkasiza abo beebasunsuddemu okuvuganya ku bifo bya CEC ssaako n’abo abayissemu nga tebavuganyiziddwa okwabadde ssentebe Museveni n’omumyuka we asooka Al- Hajji Moses Kigongo.

Kadaga yagambye nti amateeka g’e kibiina kya NRM gagamba nti avuganya ku kifo kya CEC kyonna bamubuza nti kiki ky’okoledde ekibiina kyo mu myaka ekkuumi  kyokka Among gwe bansimbaako yakamala mu kibiina emyaka esattu gyokka.

Yagambye nti  olw’obumanyirivu bwalina ne bbanga lyamaze mu kibiina abadde asaanidde baleme ku musimbako muntu yenna nga bwebakoze  omumyuka wa ssentebe asooka Al- Hajji Moses Kigongo natavuganyizibwa.

Anita Among ng'awayaamu ne bannakibiina kya NRM

Anita Among ng'awayaamu ne bannakibiina kya NRM

Yagambye nti okumunyigiriza kijja kukoosa ekibiina mu Busoga. Wabula kino kyatabudde Pulezidenti Museveni n’agamba nti Kadaga ayawule eby’obufuzi bya CEC ne NRM ku bantu be ab’e Busoga kubanga kubanga byanjawulo  era talowoooza nti watali n’o Busoga tebubeerawo.

 Among yagambye nti   kituufu mu kibiina akyali mupya naye alina bingi byakoze mu kibiina kya NRM mu bbanga lyabadde nga sipiika okuli n’okuvuba ababaka ba palamenti  abasukka   ekkuumi okuva kuludda oluvuganya gavumenti ate abamaanyi gattako n’okukunga okw’omugundu kweyajja nakwo mu kibiina