Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Piki ezaasangiddwa we baggyiramu amafuta
Mu kikwekweto kino era bazudde ebidomola by'amafuta 192, ebikebe 16 omuli amafuta, emipiira gye beeyambisa okukama amafuta 24 wamu ne pikipiki 2.
Byonna ebikwatiddwa n'emmotoka, bikuumirwa ku poliisi e Kabalagala ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ebimu ku bidomola ebyasangiddwayo n'empiira ezaakwatiddwa
Kino kidiridde emikutu gya Vision Group omuli ne Bukedde, okufulumya obubbi bw'amafuta e Kibuli, Lugogo ne Luzira nga kigambibwa nti bulimu abajaasi n'abaserikale b'ebitongole ebirala.
Ekikwekweto kiyindidde mu Agip zzooni ne Kitooro e Kibuli mu Makindye Division mu Kampala era nga kikyagenda mu maaso okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire