'Abakyala mumazeeko abaami emirembe ne batuuka n'okusuulawo amaka, mweddeko'

FAAZA Steven Nkwangu awabudde abakyala abamalako abaami emirembe mu maka okweddako, n'agamba bakoze ekinene okugasattulula, kye kiseera badde eri obusaasizi bwa Katonda.

'Abakyala mumazeeko abaami emirembe ne batuuka n'okusuulawo amaka, mweddeko'
By Moses Nyanzi
Journalists @New Vision
FAAZA Steven Nkwangu awabudde abakyala abamalako abaami emirembe mu maka okweddako, n'agamba bakoze ekinene okugasattulula, kye kiseera badde eri obusaasizi bwa Katonda.
 
Bino abyogeredde mu kitambiro kya mmisa ab'ekibiina kya Yezu Ow'obusaasizi [DIVINE MERCY] mu Parish y'e Gayaza,nga bakulembeddwa ab'ekisomesa ky'omutukuvu Balikuddembe e Kasangati nga bakuza olunaku lwa Fausita Omutuukirivu mu Eklezia Katolika.
 
Bannakibiina Nga Bakutte Ebifaananyi Bya Yezu Ow'obusaasizi Mu Ekleziya E Ggayaaza.(moses Nyanzi)

Bannakibiina Nga Bakutte Ebifaananyi Bya Yezu Ow'obusaasizi Mu Ekleziya E Ggayaaza.(moses Nyanzi)

Yagambye nti abakazi bangi mu maka bamalako abasajja emirembe lwakuba teboogera, batya okuswala ne basalawo okusirikira ekizibu ekyo kiviiriddeko amaka mangi okusasika n'okubulamu emirembe.
 
''Ekyo nno si kikolwa kya busaasizi, naddala bamaama mmwe abakuzeemu, mumazeeko nnyo abaami emirembe ne basuulaawo amaka gaabwe. Lwaki bagasuulawo? Kubanga abasajja tutya okuswala, odda otya mu bantu n'onyumya ng'omukyala bw'akukijjanya, kisingako okumudduka olw'okukuuma emirembe. Katonda yayagala nnyo omwana w'omuntu naye olw'amalala ky'ava yawaayo omwana we akomererwe ku musaalaba naye kinakuwaza okulaba ng'ate Yezu be yafiirira tebalina kusaasira kwonna eri bannaabwe,''bw'atyo Faaza Nkwangu bwe yategeezezza.
 
Bannakibiina Nga Bayingira N'ekifanaanyi Kta Yezu Mu Ekleziya E Ggayaaza.(moses Nyanzi)

Bannakibiina Nga Bayingira N'ekifanaanyi Kta Yezu Mu Ekleziya E Ggayaaza.(moses Nyanzi)

Yasabye bannakibiina okwongera okubunyisa enjiri y'obusaasizi bwa Katonda eri buli muntu, beewale obunyoomi obususse mu maka nti bwe buvaako okumalawo emirembe, n'asaba okubukaza emirembe buli omu mu maka, gye bakolera,mu mikwano na buli wantu.