Abakulira amasomero agali ku musingi gw'ekkanisa balabuddwa ku mululu

SSABADINKONI w'e Luzira Ven.Canon Moses Bbanja avumiridde omulugube ogususse mu bakulu b'Amasomero ensangi zino n'abamu ne batuuka n'okubba Ssente z'Amasomero g'Ekkanisa olw'okwagala okwegaggawaza. Okwogera bino Canon Moses Bbanja asinzidde ku Ssomero lya Luzira S.S ku mukolo ogw'okusiibula eyali omukulu w'Essomero lino Grace Nantajja Ssebanaakitta eyatwaliddwa ku Mengo S.S n'asikizibwa Peter Ssennyimba.

Abakulira amasomero agali ku musingi gw'ekkanisa balabuddwa ku mululu
By James Magala
Journalists @New Vision
SSABADINKONI w'e Luzira Ven.Canon Moses Bbanja avumiridde omulugube ogususse mu bakulu b'Amasomero ensangi zino n'abamu ne batuuka n'okubba Ssente z'Amasomero g'Ekkanisa olw'okwagala okwegaggawaza.
 
Okwogera bino Canon Moses Bbanja asinzidde ku Ssomero lya Luzira S.S ku mukolo ogw'okusiibula eyali omukulu w'Essomero lino Grace Nantajja Ssebanaakitta eyatwaliddwa ku Mengo S.S n'asikizibwa Peter Ssennyimba.

 
Canon Bbanja atenderezza Ssebanaakitta olw'okuweereza mu bwesimbu awatali ku bulankanya nsimbi yonna kyokka n'alaga obwennyamivu olw'abamu ku bakulu b'Amasomero abalya Ssente ez'okuwandiisa abayizi okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo n'abasaba okwekuba mu kifuba.
 
Agambye nti kikulu nnyo omukulembeze okubeera omwerufu mu ntambuza y'emirimo gye n'ategeeza nti kiyamba abo b'akulembera okufuna obuweera obulungi n'ategeeza nti Abakulira Amasomero bonna bateekwa okubeera abesigwa mu buli kimu.
 
Olukiiko lw'Abazadde mu ngeri ey'enjawulo lusiimye Ssebanaakitta era nga bamuwadde ebirabo okumisiima olw'okusitula omutindo gw'Essomero lya Luzira S.S.
Rk 8

Rk 8

 
Ye Omubaka wa Nakawa East Eng.Ronald Balimwezo kasinzidde ku mukolo guno n'alaajanira Gavumenti okwongera ku muwendo gw'Amasomero ga Gavumenti mu Nakawa olw'ensonga nti omujjuzo gw'Abayizi gweyongedde nnyo mu Luzira S.S.
 
Mu bubaka bwe obusiibula abadde akulira Essomero lya Luzira S.S Grace Nantajja Ssebanaakitta,asiimye abantu bonna abamuyambye mu myaka omukaaga gy'akulemberedde essomero lino n'akuutira munne eyamudidde mu bigere okutandikira w'akomye.
 
Ye Peter Ssennyimba omukulu w'Essomero lya Luzira S.S omugya,asuubizza okukolaganira awamu n'abazadde okulabanga omulimo gw'okusomesa abaana b'e Ggwanga gugenda mu maaso