Abantu 3 abagambibwa okwenyigira mu bubbi bw'ente, bakwatiddwa poliisi e Mbale.
Bino bibadde Muti cell mu muluka gw'e Maluku mu Industrial diviizoni y’e Mbale, poliisi bw'ekutte Patrick Othieno 55, ow'e Kapkwara B e Busia Tororo, Godrick Simbowe 34 omuvuzi wa bodaboda ng'abeera Kasanja cell mu Bassajjabalaba ward ne Irene Nandutu 32 naye mutuuze e Muti.
Kigambibwa nti ennyama n'amaliba g'ente, baabadde babitambuliza mu mmotoka Rav4 nnamba UAJ 354G nga n'emu ku nnyama, baamaze okugissa mu nnyumba ya Peter Kutosi ng'ono ye bba wa Nandutu.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, agambye nti bayigga Kutosi agambibwa okuba nga y'akuliramu ekibinja kino.