ABASUUBUZI abakolera ku kizimbe kya Zebra Building ku Nasser Road beekalakaasizza nga bawakanya eky’omugagga nannyini kyo, Godfrey Nyenya okubongezza ssente z’obupangisa.
Kiddiridde okubongeza ebitundu 18 ku buli 100 ng’agamba nti naye ekitongole kya URA ekiwooza omusolo kyazimutaddeko mu nkola ya EFRIS mw’eyita okusolooza omusolo gwa VAT n’azigata butereevu ku bapangisa.

Abaserikale Nga Batwala Abamu Ku Basubuuzi Abaakwatiddwa Nga Beekalakaasa Ku Nasser Mu Kampala.
Omusuubuzi Zaina Nabukeera yagambye nti tekiba kya bwenkanya URA kwongeza nnannyini kizimbe ssente mu nkola ya VAT ate n’azisindika butereevu ku bapangisa.
Alabirira ekizimbe kino (yasabye amannya gasirikirwe) yagambye nti abasuubuzi baayitibwa ne babannyonnyola era bangi basasula ssente ezo kubanga za URA naye tazirinaako buyinza zigenda butereevu mu Gavumenti.
Abasuubuzi abeekalakaasizza baggadde oluguudo wabula poliisi okuva ku CPS yayanguye n’ekwata abamu okutangira abalala okubeegattako.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Rachael Kawala yagambye nti abasuubuzi 18 be baakwatiddwa.