Abagambibwa okubba enkoko babakubye mizibu omu ne bamumiza omusu!

4th September 2024

ABOOLUGANDA babiri abagambibwa okubba enkoko, abatuuze babakakkanyeko ne babakuba , omu ne baleka nga bamusse. 

Abagambibwa okubba enkoko babakubye mizibu omu ne bamumiza omusu!
NewVision Reporter
@NewVision
#Amawulire #enkoko
124 views

ABOOLUGANDA babiri abagambibwa okubba enkoko, abatuuze babakakkanyeko ne babakuba , omu ne baleka nga bamusse.

Bino bibadde mu kabuga k'e Nabugolo mu ggombolola y'e Kalagala e Luweero, abatuuze bwe bakkakkanye ku Abbey Nyanzi 22, omutuuze w'e Lunyolya okumpi ne Bombo e Luweero, ne bamukuba ne bamutta ate muganda we Yasin Kange ne bamuleka ng'azirise.

Ono yasimattuse naye baamukubye mizibu.

Ono yasimattuse naye baamukubye mizibu.

Bano bombi abatuuze babateeberezza okubba enkoko eziwera nga 30, ze babadde batambuliza ku pikipiki okuzitwala okuzifunira akatale.

Omwogezi wa poliisi mu Savana ,Sam Twineamazima, ategeezezza nti bano bombi, abatuuze baabatayirizza mu kkubo nga bali ku pikipiki , nti bwe beetegerezza ne bakizuula nga ze zimu ku nkoko ezaabadde zibbiddwa ne babakuba n'okwokya ppikippiki kwe baabadde batambuliza enkoko.

 

Agasseeko nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Luweero, ate alumiziddwa naye ali mu kujjanjabibwa , ng'okunoonyereza bwe kukolebwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.