Mwanje ng’akozesa essimu nnamba 0701790104 okukubira bazadde b’omwana yabadde ayogeza bboggo, bumalirivu n’obukambwe era ku ssimu gye yasembyeyo okukubira Muhamed Ssegawa, taata wa Quiram Ssegawa 6 yeewanye nti okuwamba abaana gwe mulimu gwokka gw’ategeera obulungi kubanga aguluddemu era ye tateesa era tasonyiwa.
Olwo Mwanje yabadde akommekkereza Ssegawa nti tageza n’azannya obuzannyo, kubanga singa akigezaako ajja kukisasulira kubanga (Mwanje) muzibu nnyo ne Poliisi emumanyi bw’atyo n’alagirira Ssegawa engeri gy’alina okuweereza ssente mu bwangu bw’aba ayagala omwana we ng’akyali mulamu.
Wabula bino Mwanje omutuuze w’e Masajja-Kibira Zooni B, mu Munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo, mu disitulikiti y’e Wakiso, okubyogera bakira bigwa butereevu mu matu g’aba Poliisi okuva mu kibinja ekya Flying Squad ne Crime Intelligence abaasobodde okukozesa tekinologiya ne bazuula ekifo ekituufu nnende we yabadde yeekukumye ne bamuyungulira bakomando ab’ekibinja ekirwanyisa abatujju.
Wabula abamu ku bakomando ba Poliisi babbiddeko Bukedde nti tekyabadde kyanju okufuna Mwanje, olw’ensonga nti abadde atambulira ku ppiki nnamba UEM 418Z, ng’akyusa ebifo eby’enjawulo mu disitulikiti 4; Wakiso, Mukono, Kampala ne Buikwe.
Najib Muyingo Omu Ku Baabadde Bawambiddwa Mwanje.
Wakati mu bakomando okuzuula ekifo Mwanje we yabadde, bo bazadde b’omwana baasigadde bawuddisa Mwanje era ne ssente obukadde 2 baaziwerezza ku ssimu gye yabawadde ne bagattako n’okumuweereza obubaka obwa SMS nga bamubuuza nti oba ssente zituuse.
Wakati awo nga ssente zaakatuuka ku ssimu ne Mwanje nga bw’alindiridde okuyimbula omwana, bakomando baamuguddeko ne bamukubirawo amasasi agaamuggye mu budde.
Misoni eno yakoleddwa ku Lwokutaano nga Mwanje baamusanze n’abaana basatu Poliisi be yanunudde wabula ng’abadde yaakeenyigira mu kuwamba abaana musanvu, n’akanda bazadde baabwe okumusindikira ssente awatali kumumalira budde bwe balemererwa abaana abatte.
Bakomando baagenze okutuuka ku Mwanje okumukuba amasasi baamusanze omwana amuyimbudde ng’amuwadde owa boda amutwalira bazadde be.
Wadde ng’owa boda yakwatiddwa, kyazuuse nti, Mwanje yabadde tamumanyi, wabula yamuwadde ssente n’amugamba amutwalire omwana mu kifo we bakkaanyizza n’amusasula ssente nga tamanyi nti yabadde awambye muwambe.
Quiram Ssegawa 6, asomera ku Lugard Kindergarten, era nga kitaawe mutuuze w’e Makerere-Kikoni. Yagambye nti abaawambye mutabani we baabadde bakozesa ennamba y’essimu 0701790104 ebadde ekozesebwa okusaba ssente ne ku baana abalala abazze bawambibwa.
Mu kamu ku butambi bw’amaloboozi, Mwanje awulirwa ng’agamba Ssegawa bwati, “Ate njogera naawe essimu ogijjako, nkugambye njagala obukadde bubiri, ku ssaawa 10 ez’olwaleero, bwe mukikolako omwana nja kumusindika muwe boda emuleete oba mulagirire aw’okubasanga. Okitegedde ssebo, nze siri muntu musiru nti bwemba nfunye ssente omwana ate mutta, nnyanguyiza mangu kuba n’essimu yange omuliro guli kumpi kuggwaako. Kye njagala ze ssente bwe munkandaaliriza omwana wammwe temujja kuddamu kumuwuliza kuba guno gwe mulimu gwenkola nnina abalala ab’okukwataganya,” Bwatyo Mwanje bwe yategeezezza bazadde ba Quiram.
Kigambibwa nti Mwanje, abadde agenda atuukirira abazadde ab’enjawulo ng’abagamba nti ayamba abaana abato okutumbula ebitone byabwe eby’okusamba omupiira, ku ssente entono ddala, kyokka oluvannyuma omuntu y’omu, n’abawamba ng’atiisatiisa okubatta singa bazadde baabwe babeera tebamuwadde ssente z’abasabye.
Poliisi egamba nti abadde yaakawamba abaana musanvu kyokka ng’abazadde abamu tebawaaba misango ku poliisi olw’okubatiisatiisa nti singa bakikola, obulamu bw’abaana baabwe babeera babutadde mu matigga.
Okunoonyereza kulaga nti ennamba y’essimu 0701790104 gy’abadde akozesa okukanda abazadde ssente wakati w’obukadde obusatu n’obubiri.
ABAANA ABALALA B’AZZE AWAMBA
Poliisi we yamuttidde kigambibwa nti yabadde awambye abaana abalala basatu era ng’omu ku bazadde b’abaana bano eyategeerekese nga Abdu Bulega ne Shamim abatuuze b’e Kibiri Zooni A, ku luguudo lw’e Busaabala, be bamu ku babadde basula ng’emitima gibali ku mutwe olw’omwana waabwe, Najib Muyingo,7, okuwambibwa Mwanje, era nga yabadde abaagaza obukadde busatu oba okumutta singa zibalema okumusindikira ku ssimu ye.
Kigambibwa nti Mwanje, aliko omwana omulala gwe yabadde awambye okuva e Kajjansi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe, era ng’akozesa obukodyo bwe bumu.
Okunoonyereza kulaga nti aliko banne b’abadde akola nabo nga bambala mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa ne bagenda nga bakonkona ku nzigi z’abantu nga beefudde abanoonya abaana ab’okutendeka okusamba omupiira oba okuwa sikaala z’okusomera obwereere.
Kigambibwa nti abaana abamu abadde abatwala mu maka ga bazadde be gye bamuzaala e Buikwe n’abatereka eyo oluusi e Salaama Munyonyo, gy’abadde asula.
Comments
No Comment